TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Lipoota ya poliisi ku ttemu: Mbarara yeesinze n'emisango gy'obutemu 138

Lipoota ya poliisi ku ttemu: Mbarara yeesinze n'emisango gy'obutemu 138

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2019

POLIISI efulumizza lipoota ey’omwaka 2018 ku buzzi bw’emisango mu ggwanga ng’eraga ettemu bwe lyeyongedde mu ggwanga.

Ochola 703x422

Ochola (ku ddyo) n'omumyuka we Muzeeyi Sabiiti nga bafulumya lipooti.

Lipoota yafulumiziddwa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martins Okoth Ochola ng’eraga nti obuzzi bw’emisango mu ggwanga businga Mbarara, Lira, Arua ne Ntungamo.

Wabula Ochola ategeezezza nti okutwaliza awamu obuzzi bw’emisango egiroopebwa ku poliisi bukendedde mu 2018 bw’ogeraageranya ne 2017. Mu 2018 emisango 238,746 gye gyaloopebwa nga gino gyakendeera okuva ku 252,065 egyaloopebwa mu 2017.

Ochola yagambye nti emisango egyekuusa ku ttemu gyalinnye nga giri 4,497 bw’ogeraageranya n’egyaliwo mu 2017 egyali 4,473.

Emisango emirala okuli okusobya ku baana gyali 17,521 emirala ku baana gyali 11,589, obubbi obutali bwa mmundu gyali 61,533, obubbi bw’emmundu gyali 7,354,okukuba abantu gyali 36,323, emisango gy’ebyobufuzi n’egyabaamawulire 442, obuli bw’enguzi 32, ebiragalalagala 2,890,emisango emirala gyonna 64,426.

Yagambye nti emisango gy’okuttisa emmundu gyali 190. Nga kw'egyo 102 battirwa mu bibuga, 79 mu byalo ate mwenda ku nguudo ennene.

Yategeezezza nti abamu ku beenyigira mu misango egy'enjawulo baakwatibwa ne batwalibwa mu kkooti ne bavunaanibwa ate ng’emisango emiralala gikyanoonyerezebwako.

Akulira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango, Grace Akullo bwe yabadde ayanjula emisango egibaddewo mu 2018 yagambye nti ettemu likoleddwa mu ngeri nnyingi omuli okukubwa amasasi, okuwambibwa, abantu okutwalira amateeka mu ngalo, okuttibwa obutwa, okufiira mu muliro, obutabanguko mu maka n’abafudde mu ngeri endala.

OKUTTIBWA KWA ABIRIGA NE KIRUMIRA

Yagambye nti emisango omwali abantu abaakubwa amasasi giwera 190 omwafiira abantu 218 nga ku gino kwaliko okutta omubaka Ibrahim Abiriga eyattibwa nga June 8, 2018 ne ASP Muhammad Kirumira eyakubwa amasasi mu September 2018 e Bulenga.

Yategeezezza nti ku kutwalira amateeka mu ngalo poliisi yafuna emisango 636 nga muno mwafiiramu abantu 656, ng’abasinga baakubwa babalanga kwenyigira mu bunyazi n’obubbi, abantu obutakkiririza mu nkola ya kkooti, okuwoolera eggwanga, okwenyigira mu byawongo.

Mu disitulikiti ezaasingamu okutta abantu mu ngeri y’okutwalira amateeka mu ngalo mwe muli Arua awattirwa 19, Mbarara awattirwa 18 ne Luweero awattirwa 17.

Yagasseeko nti era poliisi yafuna egyekuusa ku kuwamba abantu 202 wabula 16 ku bo ne battibwa okwali ne Susan Magara, kyokka 84 bo poliisi n'ebanunula, 99 ne kizuulwa nti baali beewambye ate nga abantu 3 tebannazuulwa.

MBARARA Y’ESINGAMU ETTEMU

Yalaze nti disitulikiti y’e Mbarara ye yasinga okubeeramu n’emisango egyekuusa ku ttemu nga yalimu emisango 138, Arua 106, Ntungamo 96, Mubende 84, Tororo 79, Lira 79, Kiryandongo, 79, Luweero, 68, Isingiro 66, Busia 64, Masaka 62, Sembabule 60 ne Nakaseke 60.

ABASAJJA BE BASINZE OKUTTIBWA MU BUSAMBATTUKO MU MAKA

Lipoota era eraga nti abantu 353 be battiddwa mu busambattuko mu maka nga ku bano 174 basajja nga 138 bakazi, 25 balenzi ate abawala 16.

Yagasseeko nti disituliki y'e Lira ye yasinga okubaamu emisango egyaloopebwa ku poliisi nga yalimu 6726, Mbarara 5262, Arua 4961, Ntungamo 4731, Katwe 3943, Mbale 3940, Omoro 3844, Gulu 3569, Kabale 3429, Tororo 3406, Jinja 3244, Mpigi 3228 ne Kapchorwa 2831.

EMISANGO GY’OBUTAMBI KU YINTANEETI

Yagambye nti poliisi era ekyalina okusoomoozebwa ku misango gy’okukozesa obubi yintaneeti nga waliwo abakola obutambi ne babuweereza abalala n’ekigendererwa eky’okunyiiza be babusindikira.

OMUSANGO GWA BOBI WINE OGW’OKULYA MU NSI OLUKWE

Yannyonnyodde nti era poliisi yafuna omusango gw’okulya mu nsi olukwe abantu bwe baalumba oluseregende lwa mmotoka ya Pulezidenti ne bakuba mmotoka ejjinja eryayasa endabirwamu bwe yali mu kibuga Arua era abantu abawera omuli n’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu ne bavunaanibwa.

OBUBBI OBUYITA MU LUKUJJUKUJJU LW’EBYENFUNA

Obubbi obw'ekika kino bukyali bwa maanyi. Banokoddeyo kkampuni bbiri ezaanyaga Bannayuganda nga ziyita mu kye baayise PYRAMID SCHEME, nga mu nkola eno bakugamba nti ossaayo ssente nga bw’osikiriza abalala okukwegattako era abasooka okuwaayo bafuna amagoba ga kiralu okumala ebbanga, kyokka ekiseera kituuka abakirimu ne badduka olwo abantu bangi ababa baakakyegattako ne baviiramu awo.

Bawadde ebyokulabirako bya kkampuni bbiri:

D9 Clube eyali ekulirwa Magara Smart Protus ng’ayambibwako Christine Onen nga bano baggulawo akawunta eziwera mu bbanka ez’enjawulo era nga kuno ababbibwa kwe basanga ssente zaabwe, eno Magara gye yaziggyanga ng’alaga nti aziwa bakama be ab’e Brazil n’e China.

Poliisi we yamuyimiririza nga ku akawunti ze kuliko obukadde bwa doola bubiri bulamba. Omusango gw’okumuvunaana asibwe gwalema ne bawa ababbibwa amagezi okuwaaba ogw’engassi.

Waliwo ekikampuni ekirala ekyeyita Development Channel TV nakyo nga kyakozesa olukujjukujju lwe lumu ne kitwala ssente z’abantu ng’abamu baasasula kaasi abalala baaziyisa ku line z’essimu bbiri, eya MTN n'eya Airtel, we baabayimiririza wakati wa January ne May 2018 nga ku layini ya MTN baakabbirako obukadde obusoba mu 900 ate nga ku ya Airtel babbiddeko obusoba mu 100.

Yagambye nti waliwo abeenyigira mu buzzi bw’emisango ne baddukira ebweru w’eggwanga era nga poliisi enoonya 25 nga babayisizzaako ebbaluwa ezibanoonya ezaakwasiddwa poliisi y’ensi yonna.

Emisango emirala poliisi gye yafunye mu 2018 kuliko obukumpanya ku ttaka nga waliwo okujingirira ebyapa ne babba ettaka, okulyesenzaako mu bukyamu, okuwaayo ebiwandiiko ebijingirire n’okuwandiisa ettaka mu lukujjukujju.

OMULIRO

Ye akulira ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro, Joseph Mugisa, yategeezezza nti poliisi yadduukirira mu bifo awagudde obuzibu 1018 mu 2018 ng’omuliro guno okukwata kyava ku bulagajjavu obwayolesebwa abantu gye gwakwata?

Yagambye nti abantu 59 be baafiira mu muliro ogwava ku bintu eby'enjawulo omuli emisubbaawa egirekeddwa nga gyaka ne ssigiri, ebintu ebirekeddwa mu masannyalaze n’okwokya amayumba.

OBUBENJE

Ye akulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku bidduka, Dr Steven Kasiima, yagambye nti omuwendo gw’obubenje omwafiira abantu gweyongerako okuva ku 3051 mu 2017 ne gutuuka ku 3194 mu 2018.

Yagambye nti obubenje obusinze okufiiramu abantu bubadde nnyo mu kitundu kya Kampala n’emiriraano nga businze kubeerawo okuva ku ssaawa 12:00 ezaakawungeezi n’essaawa 4:00 ez’ekiro nga kiva ku kuvugisa ekimama nga muno mufiiriddemu abantu 3,689, abantu 9,539 ne bafuna ebisago eby’amaanyi ate abalala 1,188 ne bafuna ebisago ebitono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.