TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okusaba kwa Mumbere okuziika nnyina kuwulirwa nkya

Okusaba kwa Mumbere okuziika nnyina kuwulirwa nkya

Added 13th June 2019

Kkooti y'ensi yonna etuula e Kololo eyise mu bwangu okuwulira fayiro y'omusinga gwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ng'asaba okumukendeereza Ku bukwakkulizo obwamuweebwa asobole okugenda e Kasese aziike nnyina.

 Museveni lwe yasisnkana maama wa Mumbere (waggulu mu katono.))

Museveni lwe yasisnkana maama wa Mumbere (waggulu mu katono.))

Bya Alice Namutebi
 
Kkooti y'ensi yonna etuula e Kololo eyise mu bwangu okuwulira fayiro y'omusinga gwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ng'asaba okumukendeereza Ku bukwakkulizo obwamuweebwa asobole okugenda e Kasese aziike nnyina.
 
Mumbere yataddeyo okusaba kwe eggulo ng'agamba amateeka agamuweebwa obutaddamu kulinya kigere e Kasese okutuusa nga emisango egyobuttemu,okulya munsi ye nobutujju giwedde okuwulirwa gagenda kumulemesa okuziika maama we era nasaba bagakendeezemu.
 
Maama wa Mumbere, Christine Biira Mukirania yafudde ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu ddwaaliro e Kirembe ng'agenda kuziikibwa Lwakusatu lwa wiiki eggya ku kyalo Nyamirangira e Kasese.
 
Mu bukwakkulizo obwaweebwa Mumbere bwe yali akkirizibwa okweyimirirwa okuva mu kkomera e Luzira yagaanibwa okuddayo e Kasese wabula n'alagibwa kutambulira mu disitulikiti ya Kampala, Wakiso ne Jinja okutuusa ng'omusango gwe guwedde era okuva olwo abadde taddangayo kulinnya Kasese.
 
Kati omulamuzi Eva Luswata alagidde nti okusaba kwa Mumbere agenda kuwulira enkya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...

Ssekandi ayozaayozezza Bann...

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuna City nga ne disitulikiti...