TOP

Obunkenke nga Bashir atwalibwa mu Kkooti

By Cathy Lutwama

Added 17th June 2019

Olwamusomedde emisango tebaamuganyizza kwennyonnyolako, omulamuzi n’amuwa wiiki emu ng’amaze okuteekayo okwewozaako kwe.

Bash1 703x422

Bashir (mu byeru) ng'atwalibwa ku kkooti

Bya Musasi waffe
 
 
Abaamagye abaali bakuuma eyali pulezidenti wa Sudan Omar al- Bashir ng’akyali mu buyinza be baakulidde ebyokwerinda bye nga bamwetoolozza emmundu ez’enjegere n’ennene ezikasuka ebiwummumpu. Bashir yabadde atwalibwa mu kkooti. 
 
Okwawukanako n’emirundi emirala gyonna, ku luno bannamagye bakkirizza abamawulire okutuuka ku kkomera lya Kobar Prison ne bamukuba ebifaananyi okuva ku kkomera okutuuka ku kkooti.
 
Abajanjaweed abali mu kibinja kya ‘Rapid Support Forces’ baasimbye emmundu kumpi mu buli kanyomero olwo ne bamuvugira mu luseregende lw’emmotoka okutuuka ku kkooti nga tebalina gwe bakkiriza kusala kkubo nga ne bwe balaba ka munyeera bakeekengera.
 
Abajanjaweed baabadde babemberedde ku kabangali z’amagye eziwandiikiddwaako ebigambo by’Oluwalabu.
 
Ku Ssande gwe gwabadde omulundi ogwasoose Bashir okulabikako mu lujjudde okuva mu April 11, amagye lwe gaamuwamba. Yazze ayambadde ebyambalo byeru nga yeesuuliddeko ne ku mutwe asibyeko ekitambala ng’eky’Abasingasinga olwo ne bamuvuga mukungujjo okutuuka mu kkooti.
 
Olwamusimbye mu maaso g’Omulamuzi Alaa al-din Daffallah, n’amusomera emisango gy’okulya enguzi, okusangibwa n’ensimbi engwira mu bumenyi bw’amateeka n’okufuna ebirabo mu ngeri emenya amateeka ng’ali mu ntebe ya pulezidenti. Yabaddewo ne munnamateeka we.
 
Emirundi mingi abantu bazze bawakanya ebibagambibwa nti Bashir ali mu kkomera era amagye ne geeyama okutwala abaamawulire mu kkomera bakube ebifaananyi.
 
Olwamusomedde emisango tebaamuganyizza kwennyonnyolako, omulamuzi n’amuwa wiiki emu ng’amaze okuteekayo okwewozaako kwe.
 
Yabadde atambulirako abaserikale abali mu byambalo ebyakiragala n’ebibomboola ebya kkaki, abamu nga bambadde obukoofiira obumyufu abalala buddugavu.
 
Newankubadde yasimbiddwa mu kkooti, abalwanirizi b’eddembe baagala Bashir aggulweko emisango gy’okutta abantu n’okutyoboola eddembe ly’obuntu nga tannaba kutwalibwa mu kkooti y’ensi yonna gye baamuggulako emisango gy’ekitta bantu.
 bamu ku baserikale abaabadde bakuuma ashir ngatwalibwa mu kkooti Abamu ku baserikale abaabadde bakuuma Bashir ng'atwalibwa mu kkooti.

 

 
ABASSE ABANTU MU KWEKALAKAASA BAGENDA KU KALABBA:
General Mohamed Hamdan Dagalo, omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lwa Bannamagye olukulembera eggwanga olwa Military Council yayisizza ekiragiro nti abo bonna abeetabye mu kutulugunya n’okutta abantu abaabadde mu kwekalakaasa ku ntandikwa y’omwezi guno babanoonyerezeeko gwe gunakka mu vvi bamuwanike ku kalabba.
 
Yasinzidde ku TV y’eggwanga n’ategeeza nti, tukola kyonna ekisoboka okuzuula buli ssekinnoomu eyeenyigidde mu kutta abantu tumuwanike ku kalabba. Buli alina kye yakoze alina okukisasulira. 
 
Nga June 3, abantu baabulijjo baali bagumbye ku kitebe ky’amagye e Khartoum amagye ne gabagumbulula mu bukambwe n’abamu ne babattirawo.
 
Embeera eyo yafiiriddemu abantu abawera 128 wabula gavumenti ya Sudan egamba nti abaafa baali 61.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo