TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Okutwala ettaka okuli bbaala yange mumala kunzita - Kananura

Okutwala ettaka okuli bbaala yange mumala kunzita - Kananura

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2019

NNANNYINI bbaala ya Panamera e Bukoto, Andrew Desh Kananura alayidde obutava ku ttaka okuli ekifo kye kino okuggyako nga bamaze kumutta.

Desh 703x422

Abaserikale abaayiiriddwa ku bbaala ya Panamera Bar. Mu katono ye mugagga Kananura

Agasseeko nti abamugobaganya okuli ne minisita gwe yagaanye okwatuukiriza erinnya lye, agenda kubatwala ewa Pulezidenti Museveni.

Kananura yabadde ku bbaala ye eno ku Lwokutaano ku makya oluvannyuma lwa bawannyondo ba kkooti nga bakuumibwa poliisi okuzinda ebbaala ye n’ekiwandiiko ekimugobamu.

Embeera yabadde ya bunkenke ng’ekifo kyonna kyebunguluddwa abaserikale n’emmotoka zikadenge.

Abaserikale baabadde beekapise ebyambalo ng’ogamba nti lutalo lwennyini.

We baatuukidde ku bbaala, Kananura teyabaddewo era baafulumizza abakozi bonna wabweru ne babalaga ekiwandiiko okuva mu kkooti.

Baabadde bakyali awo ne zireeta Kananura naye n’asikayo ekiwandiiko ekiva mu kkooti ejulirwamu nga kimenyawo kiri poliisi ne bawannyondo kye baabadde nakyo.

Poliisi yalabye guli gutyo, abaserikale ne balinnya mmotoka zaabwe ne beggyawo. Kananura yagambye nti abaagala okumutwalako ettaka lye Bayindi basatu okuli Razak, Radahonda n’omulala.

N’agamba nti bano baliko minisita abali emabega. Kananura agamba nti ettaka lino yaligula ku batuuze ab’enjawulo mu myaka gya 1990 oluvannyuma lw’okutunda ebizimbe bye bisatu okuliraana Radio Simba e Bukoto.

Yalumirizza nti Abayindi bano tebalina biwandiiko ku ttaka lye bakaayanira era n’awera okubalemesa ‘pakalasiti’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...