TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro okuvunaana abaasabye enguzi mu kkooti

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro okuvunaana abaasabye enguzi mu kkooti

By Kizito Musoke

Added 18th July 2019

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde mu kufulumya eggulire erikwata ku nguzi mu kkooti, n’agamba nti kkamera za Bukedde be zaalaze nga basaba n’okwenyigira mu nguzi bagenda kuvunaanibwa.

Dpp 703x422

Mike Chibita ng’annyonnyola.

Ebyava mu kunoonyereza kuno bizze bifulumira ku mikutu gya Vision Group egy’enjawulo okuli; Olupapula lwa Bukedde, Bukedde Ttivvi, Bukedde FM ne New Vision nga gyoleka obuli bw’enguzi obuli ku kkooti ng’ekimu ku bizibu ebiremesa abantu okufuna obwenkanya.

Mu bantu kkamera be zaayanika mwalimu abakozi ku kkooti naddala abayambi b’abalamuzi abamanyiddwa nga “Court Clerk”, abamu ku bawaabi ba gavumenti, abaserikale ba poliisi n’abaserikale b’amakomera kw’ossa bakayungirizi abasaba enguzi ku bantu abalina emisango nga babategeezezza nti bagenda kutuukirira abalamuzi basale emisango mu ngeri eyamba omuntu awaddeyo ssente.

Chibita yagambye nti Gavumenti egenda kuggula emisango ku bantu omuli n’abakozi ba kkooti abaalagibwa ku kkamera za Bukedde nga baggya enguzi ku bantu.

Yategeezezza nti okunoonyereza okwakolebwa Vision Group kubayambye okumanya ebintu eby’enjawulo bye babadde tebamanyi nti gyebiri. Yasazeewo nti abakozi b’ekitongole ekiramuzi bonna abaayogerwako n’abantu be bakolagana nabo balina okuggulwako emisango mu mbuga z’amateeka.

“Ndagidde ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi okukwatagana ne Vision Group basobole okutuwa obujulizi obusingawo obunaatusobozesa okuvunaana bonna aboogerwako” Chibita bwe yagambye.

Emboozi ezaatandise okufuluma ku Ssande ya wiiki ewedde zaalaze nti enguzi ku kkooti esinga kuliibwa kw’abo ababa baagala abantu baabwe bayimbulwe naddala ku kakalu ka kkooti. Bino bikolebwa wansi w’entegeeragana eyatuukibwako wakati wa Vision Group n’ekitongole ky’obwannakyewa ekya Democratic Governance Facility (DGF) okuyambako abantu okwanguyirwa okufuna obwenkanya n’okutumbula eddembe lyabwe.

Chibita yawadde ekitongole ekiramuzi amagezi okugoba mu bwangu abantu bonna abakuhhaanira ku kkooti nga tebalinaawo buvunaanyizibwa kuba bakola kinene mu kuggya ku bantu ssente nga bakola nga bakayungirizi b’enguzi.

Ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti yagambye nti ejja kusigala ng’erwanyisa ebikolwa by’okulya enguzi, era n’alabula abakyalemedde ku muze guno nga bwe boolekedde okufuna obuzibu.

Abakozi bonna abaakwatibwa ku kkamera n’abaayogerwako yabawadde amagezi okuvaayo beeweeyo eri be kikwatako nga tebannaba kutandika kunoonyereza. Kino kisobola okubayambako okubakendeereza ku bibonerezo. Wiiki ewedde, poliisi y’e Mukono yakutteko babiri era banoonyerezebwako.

Bwe yabuuziddwa engeri poliisi gy’egenda okukolagana n’abaamawulire ku kunoonyereza nga tebabayingiridde mu mirimu gyabwe egibalagira okusirikira ebyama ebimu, Chibita yagambye nti bakimanyi bulungi nti waliwo amateeka agafuga bannamawulire, naye era waliwo obwetaavu bw’okulwanyisa enguzi. Yasuubizza nga bwe bajja okutuula n’abaddukanya emikutu gy’amawulire bakkaanye ku ngeri y’okukolamu okubuuliriza.

Ku bantu abamu kye beemulugunya nti abakozi abamu mu ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti nabo beenyigira mu nguzi, Chibita yagambye nti tebalina gwe bagenda kuttira ku liiso ne bw’aba nga wa mu ofiisi yaabwe.

Kyokka kyakola asisinkana abantu abakwatibwako n’abannyonnyola ensonga kw’asinzidde, era nga ne ku musango gwa Baguma yasisinkana famire ya Katushabe n’abannyonnyola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte