TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Okulima mukuteekemu ekibalo okwongera ku nnyingiza - Museveni

Okulima mukuteekemu ekibalo okwongera ku nnyingiza - Museveni

By Benjamin Ssebaggala

Added 22nd July 2019

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okunyiikirira okulima nga bakutaddemu ekibalo basobole okwongera ku nnyingiza.

Sec44349 703x422

Agambye nti ekiremesezza okuva mu bwavu balimira lubuto lwokka nga tebataddemu kibalo ne beesanga nga buli kebalimawo ke balya ekintu ekisibidde amaka mangi mu bwavu.

Bino pulezidenti azze abyogera mu nkung’aana ez’enjawulo mw’azze asomeseza Bannayuganda ku ntekateeka ya bonnabagaggawale basobole okweggya mu bwavu.

Olunaku lwa Sande yasiznidde mu lutikko e Lubaga n’addamu okutikka abakulembeze b’enzikiriza obubaka bwebumu n’ategeeza nti abakulu mu ddiini balina kinene eky’okukola okukyusa obwongo bw’abatu kubanga babakkirizaamu nnyo.

Okunoonyereza okwakoleddwa aba Twaweza Uganda kwe baatuumye Sauti za Wananchi kulaga nti buli maka 4 ku maka 5 mu Uganda tebalina sente zisobola kubayamba kumaliriza byetaago byabwe buli lunaku.

Okunoonyereza kuno baakufulumizza November 2018 nga kulaga nti sente amaka zegetaaga okugayimirizaawo mu lunaku lumu zikendedde okuva ku 11,800/- okutuuka ku 10,300/-

Okunoonyereza kwekumu kulaga nti amakkati ku maka gonna agali mu Uganda galina omuntu nga yawanduka mu ssomero olw’okubulwa sente.

Museveni bwe yabadde e Ngoma mu Nakaseke wiiki ewedde yategeezezza nti abaayo baamanya enjiri ya NRM ne batandika okukola kati mu kitundu ekyo wavaayo liita z’amata 1,700,000 buli lunaku.

Yagambye nti ssinga abantu bava ku kulunda n’okulima okwenkola enkadde ne bakyusa okudda ku mulembe, buli maka gagenda kufuna sente Uganda eyongere okukulaakulana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano