TOP

Famire ya Mugabe eri mu kweraliikirira

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

AMAZIGA Nnamwandu Grace ge yakaabidde ku ddwaaliro nga bba yaakakutuka gaabadde gawerekerwa ekibuuzo ekinene ennyo eri famire: Baba Mugabe, otulese wa?

Teela 703x422

Agamu ku maka ga Mugabe agasangibwa e Harare. Galimu ebisenge 25 nga gaawemmenta doola obukadde mwenda.

Ennyiike Nnamwandu gye yabaddemu ne mulekwa asembayo obuto, Robert Junior naye gye yabaddemu kubanga ababiri abo kw’ossa omutabani omulala omuto, Bellarmine Chatunga be basinga okuba mu bweraliikirivu oluvannyuma lwa Mugabe okufa.

Grace abadde atera okuyita bba Bob, kyokka nga bw’aba mu bantu amuyita Baba (ekitegeeza Taata) era nga kiviira ddala mu balwanyi banne abaasalawo okumuyita “Taata w’eggwanga”.

Okuva Mugabe lwe baamuwamba mu November 2017, gavumenti empya eya Pulezidenti Emmerson Mnangagwa ebadde emuyisa bulungi era nga n’obuyambi obwetaagisa babuweereza, olw’ekitiibwa kye babadde bawa Mugabe.

OBWERALIIKIRIVU OMUKAZI BW’ALIMU

Obweraliikirivu bw’abaana buli ku byabugagga n’obuyambi bwe babadde bafuna olwa kitaabwe, kyokka obwa nnyaabwe, Nnamwandu Grace buli ku bantu be yakijjanya nga bba ali mu ntebe; ate nga mu kiseera kino abantu abo omuli ne bannamagye kati be bali mu buyinza.

Mugabe nga yaakawambibwa, abamu ku bakungu omukazi be yafutyanka n’atuuka n’okubagoba mu gavumenti ne ku mirimu baali baagala akwatibwe aggalirwe olw’emisango egy’enjawulo gye baali bamulumiriza okwenyigiramu omuli n’okukozesa obubi ssente z’omuwi w’emisolo n’azizza ku kwejalabya.

Wabula abawabuzi mu gavumenti ya Mnangagwa ekyo baakigaana nga bagamba nti bajja kulabika nnyo mu maaso ga mukadde waabwe Mugabe nga bakutte mukazi we ne bamuggalira.

Okutya kwa Grace kati kuli kumu nti embeera teyinza kumukyukira ng’omuntu gwe babadde bakwatirwa ensonyi amaze okufa!

Emisango gye yazza ebweru w’eggwanga omuli n’okukuba omuwala ow’emisono e South Afrika nagyo tegiggwanga era okubaawo kwa Mugabe kirowoozebwa nti kibadde kimutaasa nnyo kw’ebyo byonna.

Nga baakamala okuwamba, waaliwo n’abaali baagala okubowa ebintu bya Mugabe naye ng’ekibaluma y’engeri omukazi gy’abyegazaanyizaamu; wabula nakyo kyagaanibwa nga tebaagala kwessa mu mbeera eyisa bubi mukadde waabwe mu byobufuzi bwa Zimbabwe.

Mu byobugagga Mugabe by’alese era bye baali baagala okumusuuza okuli olubiri lwe oluli mu Harare era mw’abadde abeera okuva lwe yawambibwa, kw’ossa amayumba agoogerwako nti Mugabe ne mukazi we baagagula e Sandton mu Johannesburg, South Africa, Dubai, Singapore, ne Malaysia.

Bagattako nti baalina n’ensimbi nnyingi ze baali batadde ku akawunti ez’enjawulo mu bizinga by’e Bahamas, Switzerland ne Scotland nga kati ekiddako, famire ya Mugabe tekyekakasa bulungi.

Batidde n’okusika omuguwa okuyinza okubalukawo wakati w’abaana abakulu Mugabe be yasooka okuzaala mu mukazi we omukulu Sally Hayfron (gwe yali azaddemu abaana 4 wabula omu n’afa) kw’ossa n’abaana ba Grace okuli Bona, Junior ne Chatunga.

Okuva Grace lwe yakwatagana ne Mugabe mu 1992, kigambibwa nti teyayisa bulungi baana bakulu era tebaamwagala; era kino bwe kyegattako okwejalabya n’engeri Grace n’abaana be gye baamansanga ssente ne kiteekawo olukonko.

Mugabe y’abadde akubirira n’okutabaganya era embeera eddako temanyiddwa naddala ku by’obugagga omugenzi by’alese.

Kigambibwa nti Bona ssi mweraliikirivu nnyo kubanga ali mu bufumbo bwe, wabula Junior ne Chamunga be balina obweraliikirivu obw’amaanyi kubanga babadde beesigama ku kitaabwe okufuna ssente ze babadde bamansa. Mu 2017, akatambi ka Chatunga ng’amansa ssente n’okunywa omwenge ogw’ebbeeyi kaasaasaana nnyo.

Mu katambi ako, Chatunga yali ayiwa omwenge ku ssaawa gye yagula Paawundi emitwalo mukaaga (obukadde obusukka 270) ng’alaga abantu nti essaawa eyo ne bw’ogiyiira omwenge, esigala tekyuseeko!

Abaana ba Mugabe abamu bali mu Zimbabwe, kyokka abalala bali mu mawanga g’ebweru.

Omulambo gwa Mugabe gusuubirwa okusooka okutwalibwako mu lubiri lwe mu Harare lwe yazimba nga muwala we Bona anaatera okwanjula era mu kwanjula okwo baalagira bannamawulire obutagezaako kukuba bifaananyi biraga nnyumba eno, bakome ku bya mukolo byokka ebyali bibaleese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....