TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kulubya ye yawaayo ettaka okwazimbibwa Klezia y’e Lugazi

Kulubya ye yawaayo ettaka okwazimbibwa Klezia y’e Lugazi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

Ye yawaayo ettaka eddene okwazimbibwa Eklezia y’essaza Lugazi esangibwa mu ggombolola Mutuba VII, Kawolo, mu disitulikiti y’e Mukono. Kino omugenzi Kulubya ye yennyini yakintegeeza bwe twali ku mukolo ogw’okuggulawo Eklezia eyo.

Kulubya 703x422

Klezia y’e Lugazi. Mu katono ye mugenzi Kulubya eyawaayo ettaka okwazimbibwa lutikko eno

John Ssenseko Kulubya, Mukama Katonda gwe yatutte, ensi eno tegenda kumwerabira emirembe gyonna.

Mu biseera ebyo, Omusumba Matia Sekamanya (kati eyawummula) ye yali akulembera ettwaale ly’e Lugazi.

Essaza ly’e Lugazi (erya Eklezia) lyateekebwawo enkyukakyuka bwe zajja Eklezia Enkatoliki, ekitebe ky’e Nsambya ekyali kitwala ekitundu kino kyonna okutuusa ku nsaalo ne Kenya, bwe kyagattibwa ku Lubaga.

Obuvanjuba bwa Uganda okuva ku mugga Kiyira okutuuka ku nsalo e Malaba, nabwo bulina obwetwaze obwabwo mu Eklezia Katolika.

Wabula mu mirembe egy’edda, nga eddini Enkatoliki yaakajja, ekigo ky’e Nsambya (Mill Hill Catholic Missionaries) kye kyali kitwala ekitundu ky’ebuvanjuba bwa Buganda n’obuvanjubwa bwa Uganda ne Kenya yonna okutuuka e Mombasa.

Bannakenya bajjanga mu Uganda (Nyenga Seminary ne Gaba Seminary) okusoma Obusosodooti.

Paapa Obukatoliki bwa Kenya yabusalako mu mwaka gwa 1975, era n’alonda omugenzi Kalidinaali Maurice Otunga okukulembera Eklezia mu Kenya yonna.

Omukolo n’Emmisa enkulu, ebyaliwo mu Holy Family Cathedral, nabiriko n’abantu bange.

Bino mbimanyi bulungi kubanga nali mu Kenya emyaka mingi nga nkola mu East African Airways.

Omugenzi John Ssenseko Kulubya wadde abadde amanyiddwa nga ‘Omwana w’omwami’, naye abadde mukwano gwa bangi, nga Katonda yamuwa omutima oguyamba.

Nga bw’omutegeeza ekizibu kyo, nga tadda mu luvenge okukubuuza kino na kiri, nga akuweerawo ky’oyagala ate nga tekikka wansi wa mitwalo 5, Bannakampala kye bayita ‘ekizike’.

KULUBYA YAGAANA OKUTUNDA ETTAKA LYE

Abaganda babadde bamwagala nnyo kubanga teyeetundako ttaka kitaawe Serwano Wofunira Kulubya lye yamulekera.

John Kulubya yasomera Mengo Secondary School, Namilyango College ne Kings College Budo.

Okufaananako ne mukulu we, omugenzi Sam Kulubya, John Kulubya naye yayagala nnyo okwekolera emirimu gye, era kino ky’abaddeko okutuusa Katonda lwe yamuggye mu nsi.

Twamanyaganira mu kibuga Nairobi - Kenya, nga ffembi tukyali bavubuka, ng’olwo Idi Amin ye pulezidenti wa Uganda.

Mu biseera ebyo yaali yaakawasa mukyala we Juliet Nassanga Kulubya. John Kulubya abantu okumuyita ‘omwana w’omwami’, lwa kuba nti kitaawe Serwano Wofunira Kulubya (eyali amanyiddwa nga S.W Kulubya) yali mwami wa Ssekabaka Sir Daudi Chwa II.

(Erinnya Wofunira litegeeza nti w’ofunira ebingi oba obugagga, nga abakuzaala baagenda dda oba tebakyaliwo).

Serwano Kulubya yali Muwanika wa Buganda okuva mu 1929 nga ye yada mu bigere bya Zakaliya Kitaka Kisingiri eyali omu ku “Bakulu Abasatu” abaakola Endagaano y’Olwenda (1900 Uganda Agreement) ne Bungereza, eyateekawo Ensi eno Uganda.

Abalala bali Sir Apollo Kaggwa (Katikiro) ne Stanislus Mugwanya (Omulamuzi). Serwano Kulubya yali omu ku basajja abaazimba Buganda era yakubiriza nnyo abantu okulima emmwaanyi ne ppamba.

Ebyafaayo bitugamba nti eggwanika lya Buganda yalisanga kkalu naye we yaviira ku buwanika nga Buganda ngagga nnyo olw’emmwaanyi ne ppamba n’omusolo Abaganda gwe baawanga buli mwaka.

Ensimbi ze yakuhhaanya mu ggwanika lya Buganda abantu bagamba nti nga ziringa mazzi ga Kiyira.

Serwano Kulubya Abaganda baamumanya nga omuwanika omwesimbu era eyali ow’amazima, ataakumpanya ssente, ate nga yali musajja mukozi nnyo.

Nga Uganda tennaba kwefuga, mu myaka gya 1950, Gavana yamulonda okubeera omu ku baddugavu abaali bammemba mu LEGCO (Uganda Legislative Council) olwali olukiiko olufuzi olwasikirwa Palamenti eriwo kati.

Enkiiko za LEGCO zaatuulanga mu Town Hall enkadde, naye Ssekabaka Mutesa II, bwe yazimba Bulange empya n’eyingirwa mu mwaka 1956, ate nga ya kitiibwa nnyo wano mu Uganda ne Africa yonna, Sserwano Kulubya yagamba Gavana, Sir Andrew Crawford nti kiswaza okulaba nti Gavumenti terina kizimbe kinene eky’ekitiibwa enkiiko za LEGCO mwe zisaana okutuula ate nga Buganda yo ekirina.

Amangu ago Gavana yalagira ekizimbe kya Palamenti (eky’omulembe ekiriwo kaakati) kizimbimbwe mu bwangu era kyazimbimbwa abazimbi abava e Bungereza.

Ekizimbe kya Palamenti kyazimbimbwa ku sipiidi era ne kiggulwalwo mu October 1959.

Mu biseera ebyo nali muwandiisi w’amawulire mu Uganda Post, olwali olw’Oluganda, ne Uganda Ex- press olw’Olungereza nga nze hhenda mu LEGCO, n’oluvannyuma Palamenti, okuwandiika ebyalinga biteesebwa.

Ekizimbe lwe kyaggulwawo, bammemba ba LEGCO baatambulira mu layini okuva ku Town Hall, nga bakulembeddwa sipiika Sir John Griffin, ne batambula okutuuka ffenna lwe twayingira ekizimbe kya Palamenti ekiggya.

Sserwano Wofunira Kulubya ekirala kye yakolera eggwanga, mu mwaka gwa 1959 yagamba Gavana akole mangu oluguudo okuva e Kayunga okutuuka e Mukono n’okweyongerayo okutuuka e Kyetume awali sitesoni y’eggaali y’omukka, kubanga emmere eyali eriibwa mu Kampala n’emiriraano nga eva mu ssaza ly’e Bugerere.

Bwe nali nsoma mu Namilyango College mu myaka gya 1950, loole ya College yagendanga e Bugerere buli Lwakutaano n’ereeta emmere gye twalyanga wiiki yonna.

Oluguudo lwateekebwako koolaasi mu bwangu okutuukira ddala e Kyetume kubanga mu myaka egyo nga lufula, ente we zaatuukiranga, nga eri Kyetume okumpi ne sitesoni y’eggaali y’omukka.

Ente ezaavanga e Teso ne Karamoja nga awo eggaali y’omukka w’ezireeta mu katale e Nalubabwe.

Mu Nalubabwe awo abasuubuzi b’ente mu biseera ebyo, Walusimbi Mpanga eyaliko ne meeya wa Kampala ne Hajji Nasibu eyazimba ekibuga Bweyogerere ku luguudo lwe Jinja, awo we baazigulanga ne batambuza bigere nga bagoba ente ze baguze okutuuka mu Kampala mwe baazitundiranga.

Sserwano Kulubya yali musajja Muganda nnyo era nga buli lunaku ayambala ekkanzu n’ekkooti.

Yalina library ennene mu maka ge e Kampalamukadde nga erimu buli kitabo kyonna kye weetaaga.

Era ffe abaamawulire twagendangayo nnyo ku nsonga ezikwata ku byafaayo bya Uganda, n’eby’amawanga amalala.

Sserwano Kulubya ye Muddugavu eyasooka okugula bbaasi mu Uganda nga zaakolanga mu Bulemeezi.

Sserwano Kulubya we yafiira mu mwaka gwa 1969, ye yali omu ku bagagga Abaganda abaali bamanyiddwa, era kigambibwa nti mu kiseera ekyo yalina obukadde 90 ku akawunti ye mu Barclays Bank.

Mukwano gwaffe, John Ssenseko Kulubya Mukama Katonda amuwe ekiwummulo eky’emirembe.

KAVUMA-KAGGWA Omutaka w’e Kyaggwe 0772584423

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...