TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bantomerera mu maaso ga kkamera naye ssaayambibwa

Bantomerera mu maaso ga kkamera naye ssaayambibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

Godfrey Kasujja 33, mmotoka ya poliisi yamutomerera mu maaso ga kkamera. Mmotoka okumutomera yali agenda Mityana nga yo edda Kampala.

Panga 703x422

“Mmotoka yava ku mukono gwayo n’ejja n’eyita eri ezidda e Mityana n’entomera ne ngwa mu luguudo wakati. Wano nnamalawo eddakiika nga 30 nga mmotoka ziyimiridde.

Nnalaajana bannyambe kyokka abantomera mu kifo ky’okunnyamba baabuuza abaaliwo nti, oyo gwe tutomedde y’ani, ne babaddamu nti wa bodaboda ne basimbula ne bagenda.

Abatuuze be baafuna takisi ne banjoolayoola okuntwala mu ddwaaliro.

Kkamera za poliisi zonna zaali ziraba. Oluvannyuma abaserikale ba poliisi bajja ewange ne bahhamba nti bajja kundabirira.

Baabalirira ne bakkaanya obukadde buna, naye okuva lwe baagenda siddangamu kubalabako.

Kyokka sikyakola, mbeera waka nina abaana basatu balina okusoma n’ennyumba baagingobamu era wano bansuza busuza.

Nagenda mu ddwaaliro ne bansaba obukadde 2.5 okuntereeza eggumba lino era buli lunaku mmira eddagaala lya 10,000/- lnaye nga nsanga obuzibu bwamaanyi kubanga sikola.

Naddayo ku poliisi nga mbasaba obuyambi, bahhamba nti tebammanyi era emmotoka yaabwe si ye yantomera. Nabasaba batunule ku kkamera zaabwe kubanga we bantomerera zaaliwo balabe oba nze nnali mu nsobi wabula bangoba bugobi.

Ye Richard Mukasa ng’ono y’amujjanjaba agamba nti omusajja ono mulwadde we era y’amuyunga kale yamulaba nga talina ssente n’asaalawo amuwe omuzigo.

Ye amyuka omwogezi wa poliisi agamba nti poliisi ekola buli kyetaagisa okulaba ng’emalawo obumenyi bw’amateeka naye kkamera ezimu tezikola kyokka ate ezo ezikola zirina abazifuga nga buli kimu kya mitendera.

Noolwekyo, si kyangu kumala gagenda ne bakuwa bwino eyakwatiddwa kyokka ate ssinga omuntu abeera agguddewo omusango nga tulaba ng’obujulizi buli mu kkamera tumufuna ne tumweyambisa mu kkooti.

Okugeza, abatta owabodaboda twabakwata nga tweyambisa kkamera, kale Bannayuganda mbakubiriza okugula kkamera baziteeke ku nnyumba zaabwe era bazigatte ku zapoliisi ez’oku nguudo ng’omuntu bw’aba n’obuzibu tulaba era ne tumuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja