TOP

Gavumenti emenyewo emisango gy’obutemu ku Nantaba

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2019

NGA March 24, 2019 mu kabuga k’e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono, Ronald Ssebulime yakubwa omuserikale wa poliisi Cpl. David Ssali amasasi n’attibwa mu bukambwe.

Bun703422 703x422

Ronald Ssebulime okuttibwa kyaddirira minisita Aidah Erios Nantaba okuddukira ku poliisi y’e Naggalama n’agiroopera nga bwe waliwo omusajja eyali amulondoola ku piki piki n’ekigendererwa eky’okumutusaako obulabe.

Kabangali ya police eya 999 eyali edduumirwa Cpl. Ssali oluvannyuma olwafuna amawulire gano yawondera piki piki eno era mu kabuga k’e Nagojje we yakwatira Ssebulime eyali agezaako okudduka oluvannyuma lwa piki piki kwe yali ne munne okumukuba ekigwo. Munne ataategerekeka ne gye buli eno yadduka.

Oluvannyuma lw’okukwata Ssebulime, okusinziira ku baaliwo bagamba nti yateekebwa ku kabangali ya polisie ng’asibiddwa ku mpingu wabula oluvannyuma lw’akaseera Cpl. Ssali eyakulira ekikwekweto aliko essimu gye yafuna n’oluvannyuma n’ategeeza banne bwe bali mu kikwekweto nga bw’afunye “order” era bwe batyo ne bajja Ssebulime ku kabangali ya poliisi kwe yali ateereddwa n’akubwa amasasi agaamuttirawo.

Poliisi yasooka n’efulumya amawulire ng’eyita mu mwogezi waayo mu ggwanga Fred Enanga nga Ssebulime bwe yali ateberezebwa okuba omutemu era nti alabika yalina emmundu nga kye kyamukubya amasasi.

Wabula oluvannyuma poliisi yekyusa n’etegeeza nga Ssebulime bw’atalina mutawaana gwonna era nti yali muzadde agenda ku ssomero okukyalira abaana be.

Cpl. Ssali yakwatibwa kubanga ye yakulira ekikwekweto kino era kyali kikakasiddwa nga ye kennyini yee yakuba Ssebulime amasasi agamuttirawo.

Nga tanakwatibwa Cpl. Ssali aliko akatambi mw’awulirwa ng’ategeeza Nantaba ng’omuntu gwe yali asse bwe yali omutemu era nti yalina emmundu nga yabaddizaako ne ku masasi bwe baali bamugoba.

“Nze nabagobye nga nduumira 999 batudizza ku masasi era akiwakanya yenna nze ndi mwetefuteefu okuyimirirawo okuwa obujulizi” Ssali bw’awulikika mu katambi.

Ab’oluganda lwa Ssebulime oluvannyuma lwa bino byonna, nga bayita mu munnamateeka waabwe Nkunyingi Muwada baddukira mu kkooti ne bawaabira minisita Nantaba n’abaserikale ba polisi abalala basatu okuli Ronald Opio, Ronald Baganza ne Edward Cherotich be baggulako emisango gy’obutemu.

Kkooti y’e Mukono ng’eyita mu mulamuzi wa kkooti ento, Juliet Hatanga yayisa ekiragiro ku Nantaba n’abaserikale bano okugenda mu kkooti okutandika okwewozaako ku misango gino nga July 15, 2019 wabula bonna tebalinnyayo.

SSAABAWOLEREZA WA GAVUMENTI AMWEGGYEREZZA 

Nga bakyagenda mu maaso n’okulinda ekiddako. Ku bbalaza ssabiiti eno nga Sepetember 9,2019 Ssaabawaabi wa gavumenti, Mike Chibita yafulumizza ekiwandiiko ekiraga nga gavumenti bw’eggye emisango gy’obutemu ku Nantaba n’abaserikale abavunaanibwa.

“Ekiwadiiko kino kitegeeza kkooti nga ofiisi ya Ssaabawaabi bw’ejje emisango gy’okutemula Ssebulime ku minisita Nantaba n’abaserikale Ronald Opio, Ronald Baganza ne Edward Cherotich” ekitundu ku kiwandiiko bwe kisoma era nga kiteereddwaako omukono Chibita.

NANTABA AYOGEDDE

Nantaba ayogeddeko ne Bukedde ku nsonga zino n’ategeeza nga bw’asiimye ofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti olw’okugezaako okulaga eggwanga amazima. Akyakalambira nti Ssebulime yali mutemu eyali ayagala okumusanyawo.

ABA FAMIRE YA SSEBULIME SI BAMATIVU

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa munnamateeka wa famire ya Ssebulime, Nkunyingi Muwada owa Muwada and Co Advocates, kigamba nti ng’aba famire bennyamidde nnyo olwa Ssaabawaabi wa gavumenti okujja emisango gy’obutemu ku Nantaba n’abaserikale ba poliisi abasatu. Bagamba nti bakyetegereza ensonga eno basobole okusalawo ekinaddako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...