TOP

Ndi mwetegefu okuwa obujulizi ku Kayihura - Maj. Galabuzi

By Lawrence Kitatta

Added 17th September 2019

AMERIKA olwatadde nnatti ku Gen. Kale Kayihura, ne wavaayo abantu abamulumiriza okubatulugunya nga basaba atwalibwe mu kkooti bamuweeko obujulizi.

Galabuzi 703x422

Maj. Godfrey Musisi Galabuzi

Omu ku bantu bano ye Maj. Godfrey Musisi Galabuzi, omutuuze w’e Namugongo Buluulo eyagambye nti y’omu ku baatulugunyizibwa Kayihura ne basajja be era mwetegefu okumuwaako obujulizi singa aweebwa omukisa.

“Ekyo kikyali kituuza kuba ne kkooti y’ensi yonna egenda kumuyita lwakuba erudde bulwi ate nayo nja kugendayo tugasimbagane n’omusajja oyo olw’engeri gye yampisaamu ng’ekisolo,” Galabuzi bwe yategeezezza Bukedde.

Galabuzi agamba nti mu mwaka 2016, yatulugunyizibwa ebitagambika nga Kayihura alagira basajja be ne bamukwata ne bamuggulako emisango gy’atamanyi okukkakkana ng’ali mu kkomera Nalufenya kyokka yateebwanga nga tatwaliddwa mu kkooti. Yalaze nti yasibwa enfuda ssatu mu kkomera e Nalufenya ng’omusango ogumuvunaanibwa gwa kutta Andrew Felix Kaweesi kyokka nga byonna byali bya bulimba.

“Okumanya natulugunyizibwa, we njogerera obusajja bwange bwafa,” Galabuzi bwe yategeezezza.

Yagambye nti omulundi ogwasembayo okuteebwa okuva e Nalufenya, yatuukira mu kkooti n’aggula omusango ku Kayihura ogw’okumutulugunya era gukyagenda mu maaso.

Yasiimye ekikolwa kya Amerika okussa ekkoligo ku Kayihura n’aba famire ye n’agamba nti yali yatuukirira dda ab’ekitebe kya Amerika mu Uganda ne yeekubira enduulu wamu ne mu kkooti y’ensi yonna ng’awaabira Kayihura n’abaserikale be okumutulugunya.

Yagambye nti ekimu ku by’atayinza kwerabira, olumu mukyala we yagenda e Nalufenya okumukyalira nti kyokka abaserikale naye baamutulugunya ne bamwambulamu engoye ne bamulagira okutambula obukunya mu kkomera.

Galabuzi agamba nti ekisinga okumuluma, kwe kumusibiranga obwereere n’atulugunyizibwa ku misango gy’atazzanga era bwe yatwala omusango mu kkooti, Kayihura yamusaba bategeeraganire wabweru wa kkooti kyokka ye n’agaana nga bamuwa obusente butono.

Yagambye nti alina enkovu ezitalimuva ku mubiri era olumu abasawo b’e Mulago baali bawadde amagezi atemweko omukono kubanga gwali gutandise okuvunda kyokka Mukama n’amuyamba ne guwona.

Yagambye nti yasisinkana Pulezidenti Museveni enfunda musanvu n’amunnyonnyola bulungi engeri gye yatuluguny

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...