TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya ku lukwe lw’okutta Nagirinya

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya ku lukwe lw’okutta Nagirinya

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja ne kizuulibwa nti bategeera bulungi.

Do 703x422

Abantu nga bakuhhaanidde mu kifo we baasuula emirambo gya Kitayimbwa ne Nagirinya (mu butono) e Nakitutuli e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Mu kiseera kye kimu abamu ku bakulira poliisi e Katwe, Nateete ne Kampalamukadde babakunyizza ku bya Nagirinya ne fayiro zaabwe ne zitwalibwa mu kitongole kya poliisi eky’amateeka okwongera okubanoonyerezaako.

Abaserikale abanoonyerezebwako mu musango guno kuliko abali ku ddaala lya Assistant Superitendant of Police (ASP) okuva ku poliisi y’e Nateete, Lungujja ne Old Kampala ssaako n’abaamadaala aga wansi 7 okuli abatuukirwako abantu n’abaali mu kkamera mu kiseera ettemu lino we lyabeererawo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti abaakwatibwa ku by’okutta Nagirinya okuli Kopriano Kasolo, John Lubega , Hassan Kisekka ne Nasif Kalyango baatwaliddwa ew’omusawo wa poliisi okubeekebejja embeera y’obulamu bwabwe ne kizuulibwa nti bategeera bulungi era tekuli mulwadde wa mutwe.

“Omuntu yenna akwatiddwa ku musango gw’ettemu alina okutwalibwa ew’omusawo okumwekebejja oba omusango gw’avunaanibwa yaguzza ategeera bulungi era kino kyakoleddwa ku baakwatibwa ku by’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa ne kizuulibwa nga balamu bulungi” Enanga bwe yategeezezza.

Yagambye nti bano era poliisi yabatutte mu maaso g’abalamuzi ne bakola sitatimenti nga balaga nti beenyigira mu kutta abagenzi. Ekiddako kutwala fayiro ew’omuwaabi wa gavumenti asobole okukakasa emisango egyabaggulwako.

POLIISI ENOONYA ABANTU ABALALA BASATU KU TTEMU

Enanga yagambye nti waliwo abantu abalala basatu poliisi b’enoonya ng’egamba nti baliko kye bamanyi ku ttemu eryakolebwa ku Nagirinya.

Yagambye nti banoonya abagoba ba boda babiri ng’omu ku bo yeetaagibwa olw’okumanya ku lukwe lw’okutta Nagirinya wabula n’alusirikira era ng’abazigu gwe baasooka okutuukirira nga baagala abatambuze ate omulala ye yeetaagibwa olw’okubatambuza.

Yategeezezza nti omuntu owookusatu eyeetaagibwa ye mugagga agambibwa okuwa abatemu ssente z’okutta. Enanga yategeezezza nti bwe banaaba

babuze bagenda kufulumya ebifananyi byabwe kiyambe okubazuula gye beekukumye.

Abasirikale abanoonyerezebwako mu musango guno Enanga yategeezezza nti fayiro zaabwe zaasindikiddwa mu kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku mateeka okuzeekebejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...