TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mmaliridde okulumiriza Kayihura ku by'e Nalufeenya - Ssenfuma

Mmaliridde okulumiriza Kayihura ku by'e Nalufeenya - Ssenfuma

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2019

AHMED Shaban Ssenfuka omu ku bantu abaatulugunyizibwa mu kkomera ly’e Nalufeenya, avuddeyo n’agamba nti mumalirivu okulumiriza Gen. Kale Kayihura mu kkooti singa aggulwako omusango gw’okutulugunya abantu.

Unity 703x422

Gen. Kayihura ne Ssenfuma

“Nnawulidde Gen. Kayihura nga yeegaana eby’okututulugunya. Njagala bamuyite tumulumirize kubanga ffe obulamu bwaffe yabukonzibya,” Ssenfuka bwe yategeezezza.

Ssenfuka yagambye nti ekya Amerika okussa ekkoligo ku Kayihura abamu ku bo kyabawadde ku ssanyu naye tekimala baagala. Kayihura akwatibwe asasulire bye yakola we yabeerera ssaabaduumizi wa poliisi ya Uganda.

ANNYONNYOLA EBYALIWO

Ssenfuka yagambye nti yali ku mirimu gye abasajja ba Kayihura ne bamukwata era okubonaabona kwe awo wekwatandikira Agamba nti yayita mu kutugulugunyizibwa okutagambika okwamulekera enkovu ku mubiri n’obulemu obutagenda kumuvaako.

Yagambye nti ekyenaku, bino byonna baabimukola nga bamulumiriza nti yeyatta omugenzi Andrew Felix Kaweesi.

Ssenfuka alumiriza Kayihura okujja mu kkomera e Nalufeenya n’amulagira akkirize nti ye yatta Kaweesi nti ekyo bw’akikola okubonaabona nga kukoma nti kyokka bw’agaana, ebyokudda eri famire ye abyerabire.

Ssenfuka agamba nti eky’okukkiriza nti yatta Kaweesi yagaana okukikola era kino kyamuviirako okutulugunyizibwa ‘Ndi mumalirivu okulumiriza Kayihura’ n’okubonaabona wamu ne famire ye n’okutuusa nga n’okutuusa kati omusango gukyali mu kkooti.

Agamba nti nga yaakakwatibwa, famire ye yamunoonya buli wamu n’etuuka ne ku kitebe kya poliisi e Naggulu kyokka ne babategeeza nga bwe batamanyi gye yali.

“Mu kiseera kino kyonna baali bantulugunya”, Ssenfuka bwe yayongeddeko. Ssenfuka agamba nti waliwo omulundi Kayihura gwe yagenda e Nalufeenya n’amutegeeza nti bw’aba takkiriza bya kutta Kaweesi waakiri akkirize okulumiriza abantu be baali bakutte ku ttemu lino.

Kyokka nakyo yakigaana kubanga abantu be yasanga e Nalufeenya ku bya Kaweesi, bonna yali abalabako mulundi gusooka nga talina kyabamanyiiko.

EYATULUGUNYIZIBWA OMULALA AYOGEDDE

Hasan Tumusiime ow’e Matugga agamba nti ng’ennaku z’omwezi April 05 ,2017, yali ayimiridde ku siteegi e Matugga ng’alina mmotoka, emmotoka za buyonjo mukaaga ne zimusibirako.

“Bangalamiza mu luguudo wakati era abantu bonna ne basasamala mbu nga bankwata ku by’okutta Kaweesi bye nali simanyi nako”.

Tumusiime bwe yagambye. “Abantu baatunula ng’abasajja bankuba ebigala by’emmundu nga sisobola yadde okwerwanako era olwanzigya awo banvuga butereevu ne bantwala awaka ne bayazaayo”. Bwe yayongeddeko.

Yagambye nti kwolwo yalina emitwalo 70 ezaali zisigadde awaka ne bazimutwalako. Agamba nti bwe baamuggya e Matugga ne bamuvuga butereevu era okkukkana ng’ali Nalufeenya.

“Tebantuusiza gye baali basibidde abantu abalala wabula nasula bankuba okukeesa obudde nga bwe bambuuza ebya Kaweesi” Tumusiime bwe yagambye.

BANTWALA GYE SIMANYI

Agamba nti enkeera baamuvuga ne bamutwala e Malaba ku nsalo ya Uganda ne Kenya era baatuukayo ku ssaawa 7:00 ez’omuttuntu.

Baamuleka mu mmotoka nga bagisimbye ku bbali w’oluguudo era ne bagisiba yonna.

“Abasajja baali bahhamba ebigambo ebitiisa nga bwe bagira ne bannengeza e Kenya ne bandabula okunzita bankasuke e Kenya nga bagamba nti tewali muntu yenna yali ammanyi asobola okumpondera.

Ayongerako nti baamuggyayo oluvannyuma lw’ekiseera ne bamuvuga okugenda e Bugiri ku kitebe kya poliisi era baamutuusiza mu ofiisi ya RPC.

“Nga ndi eyo basonseka omutwe gwange mu kaveera era bwe baalaba amaanyi gagenda ganzigwamu nga bakanzigyako”, Bwe yayongedde okunnyonnyola.

NSISINKANA GEN. KAYIHURA

Bwe nnakomezebwawo ekiro ekyo e Nalufeenya, Gen. Kayihura yansisinkana ng’ambuuza ebya Kaweesi era n’ansaba mukolere ekintu kimu nzikirize nti nze natta Kaweesi, ekintu kye nagaana kuba nali sikimanyiiko.

Oluvannyuma yambuuza kye njagala bankolere ne mutegeeza nti nali namuddamu kimu nti njagala kumpa bujjanjabi kuba ndi bubi era yayita Herbert Muhangi namulagira okuntwala mu Ddwaaliro nfune obujjanjabi.

Era bweyali ayawukana nange yakwata emitwalo 20 n’aginkwasa nti zinnyambeko okufuna ebyokulya kuba nali nkubiddwa nnyo bwe twayawukana Muhangi yanzisa mu mmotoka nandeeta e Wandegeya ku ddwaaliro lye bayita May ne bampa ekitanda.

Wabula nasulawo ekiro kimu n’alagira ne banziza e Nalufeenya okumusisinkana era namusisinkana enfuna eziwererako ddala mu nnaku ze nnamala e Nalufeenya.

BANTEKESA OMUKONO KU BIPAPULA KU MUDDUMU GWE MMUNDU

Olunaku lwali lwa Ssande abaserikale bajja ne banzigya mu kaduukulu mwe twali ne bannange ne batuvuga okutuuka mu Kkooti e Jinja era twatuukira mu ofiisi y’omulamuzi ng’ali n’omutaputa we. Bansomera omusango gw’okutta Kaweesi naye ng’amazima gaali nti omusango nali sigumanyiiko era saagukkirizza.

Omulamuzi namugamba kaati nti omusango nali sigumanyi era saddamu kunyega kigambo kyonna.

Nali nkyali mu kkooti abasajja babiri baayingira nga balina emmundu bbiri ne bazinteeka ku mutwe ne bandagira okussa omukono ku mpapula omulamuzi ze yasoma nti natta Kaweesi era ne nzissaako omukono wakati mu bunkenke nga sirina kyakukola. Ekikolwa kino nasigala nkyewuunya nakati.

GAVUMENTI YA KULAGA W’EYIMIRIDDE KU BYA KAYIHURA

Gavumenti egenda kutuuza olukiiko lwa baminisita okuteesa ku kkoligo Amerika lye yatadde ku Gen. Kayihura n’aba famire ye abookulusegere esalewo ekiddako.

Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda yasinzidde mu palamenti ku Lwokuna n’ategeeza nti wiiki ejja baminisita; ow’ebyokwerinda, ow’obutebenkevu, ow’ensonga z’omunda mu ggwanga ne Ssaabawolereza wa gavumenti bagenda kutuula bateese ku kiki ekiddako.

Dr. Rugunda okutuuka okwanukula, kyaddiridde Omubaka wa Buhweju Francis Mwijukye okuvaayo ku Lwokusatu nga yewuunya nti Kayihura bwe yali aduumira poliisi gavumenti yamwogerangako nti akoze kinene okutebenkeza eggwanga kyokka bwe bamutaddeko natti n’esirika.

Wano Sipiika Kadaaga we yaviiriddeyo n’alagira gavumenti okufulumya ekiwandiiko ekinnyonnyola ku byatuuka ku Kayihura.

Wiiki ewedde gavumenti ya Amerika yafulumizza ekiwandiiko ng’essa natti ku Kayihura, mukyala we Angela Umurisa Gabuka, n’abaana be okubagaana okuddamu okuweebwa Visa okulinnya mu Amerika n’okubowa ebyobugagga bya Kayihura by’alina mu Amerika oba mu kifo ekirala kyonna Amerika weerina omukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata