TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza aba Al Shabab

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza aba Al Shabab

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2019

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba Somalia n’amaato ku ssemayanja wa India, nga kati biri mu mikono gya gavumenti ya Somalia nga kati abatuuze baayo n’abakulembeze bali mu kutendereza Uganda.

Twala3 703x422

Marka Ayubu, Km 50, Km67, Sheramboti, Qoryolole, Marshalay, Ceeljale Buffow bye bimu Ku bifo ebisangibwa okumpi n’olubalama lwa ‘Indian Ocean’ ebyaggyibwa ku bannalukalala abaali baabimaamira omuli n’ekibuga ky’e Marka.

Emmundu zikyatokota mu bifo ebirinaanyeewo nga amagye ga UPDF gakyafeffetta n’okufunza omulabe.

Col. Wilberforce Serunkuuma aduumira ekiwayi kya BG 28 agamba nti Abalshabab bakozesa omukisa gw’okuba nti ebika bibiri mu bitundu bino byalina obutakkaanya omuli Arbirdigil ne Bimaal ne babawamba ng’era kye bajje baddemu okubasuuza ebibuga ebyo.

Serunkuuma agamba nti bakyagenda mu maaso n’okufufuggaza abakambwe bano abatakyalina maanyi nga kati bakozesa bikolwa bya kitujju ng’okutega bbomu.

Wabula nabo tebatudde nga mu kaweefube w’okulekera Abasomalia obuyinza mu 2021 agenda mu maaso nga basazeewo kutendeka Abasomalia mu kukozesa ebyokulwanyisa eby’enjawulo bongere okufufuggaza abatujju bano.

EKIRI MU DDWAANIRO

Abakambwe ba Alshabab baalaba nga eby’okukekeza emmundu mukono ku mukono tebaabisobole ne basalawo okutandika ebikolwa by’ekitujju ng’era kati basinga kukozesa bbomu ez’ekika kya IED (improvised explosive device ).

Bano Serunkuuma agamba nti alina eddagala lyabwe ng’era balawuna ekiro n’emisana nga yasuula abajaasi ba UPDF mu bitundu mu bibuga eby’enjawulo.

Aba UPDF basangiddwa nga bakola ekimu ku bikwekweto mu nsiko nga badduka n’okusaggula ezimu ku nsiko eziri mu bifo eby’enjawulo nga bayolesezza obukodyo obw’ekika ekyawaggulu omwabadde n’okutegulula bbomu ez’ekika kya IED nga bangi balabiddwaako n’obuuma obuzizuula ne zitegululwa bunnambiro.

Bakkomando abamu obwedda balawunira ku bimotoka eby’ekika kya Nyoka ebyasiibye nga birawula embalama za sseriyanja ‘Indian Ocean’ n’ebyalo ebirinaanyeewo ng’era emmundu zaawuliddwaako nga ziboggola mu bifo ebimu.

Serunkuuma agamba nti okutendeka Abasomaali ebyekijaasi kyayamba okukendeeza ekizibu ky’olulimi ekyasooka okusumbuwa abaasokawo.

Agamba nti balowooza nti essaawa yonna abatujju bandiggwaawo kuba bongera kubafufuggaza buli lukedde. Ate n’ebika ebyali byeyawudde mu kitundu kino kati baabitabaganya ne bifuuka kimu nga kati basigazza omulabe omu, Al Shabab.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...