TOP

Abantu boogedde ku bigambo bya Muzaata

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2019

Ng’oggyeeko abaatadde obubaka ku yintaneeti waliwo abaavuddeyo ne boogera ku bya Muzaata.

Bukeddekenzo 703x422

Hajji Nsereko Mutumba ayogerera Uganda Muslim Supreme Council: Ekyogerwa omuntu kyerabirwa kyokka gwe bakyogeddeko ayisibwa bubi era teyeerabira.

Muzaata muntu mukulu tayinza kulwana na muvubuka Kenzo. Era obusungu yabuggye wa? Mu Busiraamu okuvuma kiri Haraamu tekikkirizibwa.

Muzaata bye yakoze si bya Busiraamu.

Omuyimbi Full Figure: Omuntu omukulu talabwa mu kamwa naye Muzaata yayiseewo. Muzaata yayagadde kwessa mu butaala kubanga abadde asirise bukya Kale Kayihura ava mu poliisi.

Ekyennyamiza ye muntu okwogera atyo nga tanywa mwenge okuggyako emmere gye yalidde ku mukolo ne sooda.

Ate Penge Penge omu ku basinga okussa obubaka ku yintaneeti yageraageranyizza Muzaata ku bakirereese abamala googera ne yeebuuza nti ye Muzaata aggya wa obudde okubeera ku buli mukolo?

Era lwaki alowooza nti ku buli mukolo yandibaddeko ne by’ayogera? Muzaata bakira yeewaana ewa Rema nti ye mulwanyi wa ntalo.

Penge n’amubuuza ntalo ki ez’okuvuma? Olwo abakwata emmundu ne batta beewane kukoma wa? Omuntu omukulu weewanira otya mu kuvuma?

Abalala baalumbye Muzaata akomye okuwalampa abantu ne bamujjukiza bwe yazannyira ku Katikkiro wa Buganda n’abantu abakulu b’azze avuma ate nga tayawula ku Muzaata omuvumi w’abantu ne Muzaata Munnaddiini?

Yassin Kiragga akola ku bya Kenzo e Canada yagambye nti; Kenzo yayisiddwa bubi ebyamuvumiddwa Muzaata.

Yabadde n’omukolo n’agusazaamu ate ne basitula kikeerezi okugenda e Colombia gy’agenda okuyimbira leero ku Lwomukaaga.

Maneja wa Kenzo, Martin Beta Muhumuza yagambye Muzaata okuwandiika nga yeetonda tekimala.

Yamuvumidde ku vidiyo era baagala akole vidiyo endala nga yeetonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.