TOP

Idah Erios Nantaba yeekyaye byonna n'abyogera

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2019

MINISITA Idah Nantaba yeekyaye n’ategeeza nti amaliridde okufiira ku mazima naye tajja kukkiriza bamaafiya kumutiisatiisa.

Bukedde1 703x422

Wessaali ng’abuuza Nantaba ebibuuzo.

Nantaba yagambye nti alina obukakafu nti abaagala okumutta bali mu gavumenti munda y’ensonga lwaki tewali mukungu wa gavumenti yali avuddeyo mu ngeri etegeerekeka kukola ku nsonga ze okuggyako Pulezidenti. SEMEI WESSAALI yamusisinkanye n’amubuuza ebibuuzo ku nsonga ezitali zimu.

LWAKI OKYALEMEDDEKO NTI ABAAGALA OKUKUTTA BALI MU GAVUMENTI ?

Nantaba: Obubonero bwonna obuliwo busonga ku ekyo. Ekisooka, nga waakayita olunaku lumu nga baakatta Ronald Sebulime, Pulezidenti Museveni yankubira essimu n’antegeeza nti ppikippiki Sebulime kwe yali atambulira bamaze ebbanga nga baginoonya kuba ebadde ekolebwako ebikolobero.

Ebigambo bya Pulezidenti byaddibwamu aba CMI nabo abajja ne bahhamba nti bamaze ebbanga nga baginoonya.

Kaakati Ppikippiki eyo ani agirina, nnamba puleeti yaayo yaddawa? Ppikippiki ebadde ekolerwako ebikolobero omuli ‘okutemula abantu esangibwa etya n’omuntu ng’agivuga (Sebulime) ate ne bamutta bussi nga tebannamubuuza gye yagiggya, by’abadde agikolerako ne b’abadde akolagana nabo.

URA yang'amba nti nnamba puleeti eri mu mannya g’omusajja ayitibwa Kisige, oyo yadda wa? Ate poliisi n’abeebyokwerinda baagamba nti omusajja eyali ne Ronald Sebulime ku Ppikippiki yamuzuula nti ye Isaac Seremba nti era yadduka n’emmundu, ebikwata kw’ono tulibimanya dda.

Nze ndaba waliwo omuntu omunene ennyo ali mu gavumenti eyalagira bino byonna okubikkirirwa ng’alina ekigendererwa eky’okunzita.

WAGAMBA NTI PULEZIDENTI YAKUWA AMAGEZI OGIRA OKENDEEZA KU NTAMBULAZO NGA BW’AKOLA KU BY’OKWERINDA BYO, KATI WEETAAYA, YABIKOLAKO?

Nantaba: Obweraliikirivu bwennina okunzita mu kiseera kino businga ne ku bwaliwo emabega. Naye nze ndi mugumu nti Katonda gwe nsinza mulamu era ajja kunkuuma. Abakola ku nsonga z’ebyokwerinda obukuumi bwange baabukolako era kyenva ntambula naye tekiggyaawo kutya kwe ndimu.

Naye ate buli omu bw’anaasirika kuba atya bamaafiya okumutta ensi teggweewo? Kati nze ka njogere n’okubaatuukiriza mbaatuukirizeekiba kibe. Pulezidenti amanyi bulungi abaagala okunkolako obulabe. Ate nzize mbamuloopera. Obuzibu nti abamu bamuli ku lusegere n’olwekyo nze nninze kiddako.

WALIWO ABAGAMBA NTI OLI MU KUZANNYA BYA BUFUZI BY’E KAYUNGA NE MOSES KARANGWA

Nantaba: Aboogera ebyo tebamanyi kye boogera. Ensonga yange si ya byabufuzi, njogera ku ttemu. Karangwa aguze buli muntu ansemberera okutuuka ku bafumbi bange, alowooza nti buli muntu alina kugulibwa naye awo yeerimbye. Nze sijja kukkiriza kujoogebwa. Tujja kutttunka okutuuka ku ddakiika esembayo.

KARANGWA YAKULABUDDE OBUTADDAMU KUMWOGERAKO KINTU KYONNA N’AKUTWALA NE MU KKOOTI OLW’OKUMULEBULA

Nantaba: Tewali amugaanye agende ampawabire. Amanyi bulungi nti mmulinako bwino olw’okusengula abantu e Kayunga n’okubba ettaka lyabwe. Era akimanyi nti ne bwe tubeera wa ebyo mbimwatulira.

Omulundi gwe twasemba okugasimbagana naye twali mu maaso ga Pulezidenti nga waliwo n’eyali IGP, Kale Kayihura. Era bwe twatuuka mu maaso ga Pulezidenti Karangwa yayogera ekintu kimu nti… ‘Ono muwala wo annyigirizza ennyindo atandise okugireeta omusaayi…’!

Nnali ndowooza Pulezidenti agenda kumuvunaana oba okubaako ky’akola yaleka muleke.

Wabula kye yakola kwe kujja e Kayunga mu ggombolola y’e Babavunaanye okubba n’okutta omuntu Nantaba yeekyaye byonna n’abyogera Bbaale n’aggumiza ekiragiro ky’okuzza abantu ku ttaka Karangwa kwe yali abagobye.

Naye nga Karangwa bw’ategeka okuntwala mu kkooti, njagala ambuulire enkolagana ye ne famire ya Sebulime gyeyavudde amangu ago n’atandika okulabira ffamire ye n’okumwabiza olumbe nga bwe yakikola ku Kayunga Gardens. Bino Poliisi terabawo bya kumubuuza?

ENSIBUKO Y’EBIZIBU BYO EVA KU KI? WALIWO ABAGAMBA NTI WEEYISAAWO NNYO NG’OYOGERA NE PULEZIDENTI

Nantaba: Abalowooza batyo balina kugaziwa ku ndaba yaabwe ey’ebintu. Pulezidenti njogera naye nga bw’ayogera ne baminisita abalala.

Mu butuufu bwe tubeera mu lukiiko lwa baminisita, buli omu aweebwa omukisa okwogera naye oba okumuwandiikira akapapula okubaako ky’amugamba. Kati kirabika abamu tebalina bye bamugamba.

 antaba Nantaba

 

Ate okuva lwennasisinkana Pulezidenti nga nnaakalondebwa mu Palamenti mu 2010, Pulezidenti yandabirawo nti ndi mukozi era nzijukira okuhh’amba nti… ggwe Idah Katonda yakundeetedde.

Mbadde si sisinkanangako muntu akola nga teyeebalira wabula okukolera abalala! Naye ekikulu kiri nti obuzibu bwange busibuka ku kulemesa baggenero n’abanene abalala okubba ettaka e Kayunga n’okusengula abantu babaleke nga babundabunda mu nsi yaabwe.

Mu kubalwanyisa naddala mu bitundu nga Bbaale ne Kinamawanga nga byonna bisangibwa Kayunga gyenninnyidde ku ‘bugere’ bw’abanene era bakoze buli ekisoboka omuli okungulirira ne ssente, okuntiisatiisa, okwekobaana okunzitira ddala naye byonna tewali ky’akoze kuba Katonnda akyankuumye.

TUBUULIRE ABANENE/ BAGENERO BABBA BATYA ETTAKA N’OKUSENGULA ABANTU

Nantaba: Bayitira mu kitongole ekikola ku nsonga z’ettaka ne minisitule ne bakyusa ebyapa by’ettaka lye beegombye. Kati okukyusa ekyapa mu Uganda layisi nnyo era tobeera nga na kyapa n’olowooza nti olina obwannanyini. Amakulu g’ekyapa bagafuludde.

Kasita bafuna ekyapa eky’okubiri ekiddako eba kkooti ate bwe mutuukayo kizibu nnyo omwavu okuwangula omugagga. Ate mu kkooti abagagga/bagenero tebatuukayo wabula okukozesa ensimbi.

Ekinene ennyo omwavu ky’osobola okuggya mu kkooti kwe kwogera ssente z’oyagala mu ttaka lyo ate nazo tebazikuwa. Abalala bayita mu basika abatamanyi nnyo byafaayo bya ttaka.

Ate abalala beefula abalipangisizza ne batandika okulundirako. Basobola okutta ezimu ku nte zaabwe ne bagisuula ewuwo enkeera ne bakuvunaana okutta ebisolo byabwe era gyebiggwera ng’ettaka likuvudde mu ngalo.

WABADDE ODDUSE MU GGWANGA LWEWAGENZE E CANADA?

Nantaba: Sisobola kudduka mu ggwanga era nja kufiira kuno n’abantu bange ab’e Kayunga. E Canada nnali hhenze ku mirimu mitongole era nagimali- riza nange ne mpummu- lamu.

Abantu b’e Kayunga kye balina okumanya kiri nti nze obulamu bwange nabuwaayo ku lwabwe. Nabadde nsobola okusigalayo naye neeyama okubaweereza mu mbeera yonna. Kino nkyakikola n’akalulu akajja aka 2021 nkomawo okubakiikirira era nzija mu ngeri ya bwannamunigina ebya NRM nabivaamu.

GAVUMENTI YATADDEWO AKAKIIKO OKUKOLA KU NSONGA ZA BAMINISITA ABATAKWATAGANA NGA NAAWE MW’OLI, ONAAKOLAGANA NAKO?

Nantaba: Ako akakiiko nkakasa baakatereddewo nze naye kale, ebyo bya kabineeti sijja kubyogerako tujja kulaba ng’ekiseera ekituufu kituuse.

POLIISI TEJJANGA KUKUTEGEEZA KU NSONGA ZEWEEMULUGUNYAAKO?

Nantaba: Terina kye yali ekoze naye nze njagala ennyanukule ebibuuzo byange bino: Ani yalagira okukyusa DPC ne RPC b’e Kayunga ku lunaku kwe baali bantemulidde? Ani yasindika kabangali okuva e Kawempe n’eggya e Naggojje n’etta omuntu eyali akwatiddwa ng’ate ne Naggalama yalina kabangali?

Ani yasindika Kabangali mu maka ga mmange e Kayunga ne bajja okunsaba okugigulira emipiira? Ani oyo eyalagira omuserikale Cpl. David Ssali okukuba Sebulime amasasi ng’ali ku mpingu. Ebyo bwe babyanukula nja kuba sibabanja.

EBIRALA........

Olukiiko lwa baminisita lusazeewo ku bya Nantaba

Olukiiko lwa baminisita lusazeewo ku bya Nantaba

Nange Nantaba lumu yampedulira abajaasi ng'ampita mutujju - Maj. Galabuzi

Nange Nantaba lumu yampedulira abajaasi ng'ampita mutujju - Maj. Galabuzi

Engeri olukwe lw'okutta Nantaba gye lwalukiddwa

Engeri olukwe lw'okutta Nantaba gye lwalukiddwa

Minisita Nantaba Gav't emutaddeko akakiiko

Minisita Nantaba Gav't emutaddeko akakiiko

Palamenti ezzeemu okuwandula Nantaba ku bwa minisita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza