TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Aba Uganda Breweries bakulembedde kaweefube w'okuzzaawo ebibira: Baakusimba emiti obukadde 40!

Aba Uganda Breweries bakulembedde kaweefube w'okuzzaawo ebibira: Baakusimba emiti obukadde 40!

By Benjamin Ssebaggala

Added 30th October 2019

OKUNOONYEREZA okukolebwa abakugu kulaga nti mu Uganda bwe wataabeerawo kikolebwa okutaasa emiti egitemebwa, mu myaka 14 egijja mu Uganda temugenda kubeeramu miti.

Ublgreenuganda3 703x422

Okukung'aanya ebitongole eby’enjawulo okutuukiriza kaweefube obo kuwomeddwaamu  aba Uganda Breweries Limited.

Alvin Mbugua akulira Uganda Breweries asisnzidde ku Serena Hotel mu Kampala n’ategeeza nti omwaka gwa 1980 ebitundu ebibikkiddwa ebibira ku ttaka lya Ugand abyali 24 ku 100 kyokka 2015 wegutuukidde nga bisigadde ebitundu 10 ku 100.

Kibeere kitegeeza nti oluvannyuma lw’emyaka 10 okuva olwa leero Uganda egenda kubeera nga terina bibira singa tewabeerawo kikolebwa.

Wano waabasinzidde okutongoza kaweefube okukunga bannayuganda ku lunaku lw’okusimba emiti, basimbe emiti obukadde 40 mu ssaawa munaana zokka.

Omuwandiisi ow’enkalakkarira mu minisitule y’amazzi n’obutonde Alfred Okot Okidi bwe ategeezezza nti gavumenti efubye okukola ekisoboka nga n’abagabi b’obuyambi bagikwatiddeko kyokka sente z’eteekamu tezimala.

Akunze buli muntu  okufuba okukwatirako ku kaweefube ono okutaasa Uganda ereme okufuuka eddungu. Omukolo gubaddeko abakulira ebitongole n’amakampuni ag’enjawulo mu Ugand an’ebweru waayo.

Omubaka wa Bungereza mu Uganda Peter West agambye nti Bungereza ezze ewagira kaweefube w’okuzzaawo ebibira naddala mu buvanjuba bwa Uganda gye basimbye emiti ku ‘hectares’ 109 mu Navugulu Central Forest Reserve.

Ekyetaagisa kwe kusomesa abantu obulabe obuli mu kutema emiti okwokya amanda n’okubayigiriza nti okufumba ku gas kiyinza okubeera nga si kya buseere nga bwekiri ku manda agasanyawo obutonde.

alt=''

 

alt=''

 

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...

Fit11 220x290

Omuliro oguvudde ku masannyalaze...

Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga

Mulambo 220x290

Owa yunivasite eyabula basanze...

OMUYIZI wa yunivaasite eyabula ennaku munaana eziyise, bazudde mulambo oluvannyuma lw’abazadde be okumala ennaku...

Trump 220x290

Trump alambudde Buyindi omulundi...

PULZIDENTI wa Amerika Donald Trump 73, atuuse mu Buyindi ku bugenyi obutongole wakati mu byokwerinda ebitabangawo...

Kongojja 220x290

Bannayuganda abasuubuzi bafiiriddwa...

WADDE nga tewali Munnayuganda yaafudde, kyokka abasuubuzi mu Kampala obulwadde buno bubakosezza nnyo.