TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Musse mu nkola amateeka agatangira ab'ekika okufumbiriganwa

Musse mu nkola amateeka agatangira ab'ekika okufumbiriganwa

By Alice Namutebi

Added 30th October 2019

PULEZIDENTI Museveni asabye abalamuzi okuva ku Ssemazinga wa Africa okuteeka mu nkola amateeka g’obuwangwa n’ennono naddala agakugira abantu abava mu kika ekimu okuwasahhana kubanga kino kye kifuula Africa ey’enjawulo ku mawanga amalala.

Muse3a 703x422

Pulezidenti Museveni n'abamu ku balamuzi abeetabye mu lukungaana

Bya ALICE NAMUTEBI

PULEZIDENTI Museveni asabye abalamuzi okuva ku Ssemazinga wa Africa okuteeka mu nkola amateeka g’obuwangwa n’ennono naddala agakugira abantu abava mu kika ekimu okuwasahhana kubanga kino kye kifuula Africa ey’enjawulo ku mawanga amalala.

Museveni yagambye nti okuva edda Abaddugavu baali baamaanyi mu butonde y’ensonga lwaki bwe baatwalibwa mu buddu ne batulugunyizibwa baasobola obutasaanawo ate ne bawera kubanga omusaayi gwabwe gwali gwa maanyi.

Yagambye nti, “Mu Uganda tulina etteeka erikugira omuntu okuwasa munne gw’alinako oluganda, naye simanyi oba nga tulina erigaana abantu abava mu kika ekimu okuwasahhana. Abaagalana nga bafumbiriganwa mu kkanisa babuuza ani awaddeyo omugole naye simanyi oba babuuza abagole oba nga bava mu kika kye kimu,” Museveni bwe yabuuzizza.

Yabadde mu lukuhhaana olw’omulundi ogw’okuna olwa  African Court on Human Rights olwetabyemu abalamuzi okuva kkooti za Ssemazinga Africa olwatudde ku Speke Hotel e Munyonyo.

Yagambye nti  tulina okukuuma ebyobuwangwa byaffe nga tugatta ebyobuwangwa mu mateeka.

Museveni era yakubirizza abalamuzi okusooka okulowooza ennyo ku nkulaakulana y’eggwanga n’ebyenfuna nga tebannalowooza ku ddembe ly’obuntu lye balwanirira kubanga eggwanga bwe litaba na ssente, gavumenti ebeera tesobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwayo ku ddembe ly’obuntu ng’okubazimbira amalwaliro n’amasomero, amazzi amayonjo n’ebirala.

Yagambye nti abalamuzi basobola okuyamba mu byenkulaakulana by’eggwanga ng’essira baliteeka ku ky’okuwulira emisango egikwata ku bya bizinensi  kubanga wayinza okubaawo omusango nga ssinga kkampuni eggalwa abantu bagenda kufiirwa emirimu.

Yazzeemu okukinogaanya nti ensonga y’okuwanika ku kalaba wadde ng’amawanga g’Abazungu gagivumirira ye waakugenda mu maaso n’okugiwagira kubanga embeera nga bw’eri e Bulaaya si bweri mu Africa.

Pulezidenti wa kkooti ya Africa, Sylivian Ore yasabye Museveni eteeke omukono ku kiwandiiko  ekisobozesa Bannayuganda ababeera batyoboddwa eddembe lyabwe baloope butereevu emisango mu kkooti ya Africa.

Ore yagambye nti wadde Uganda mmemba ya kkooti eno Bannayuganda emisango gyabwe balina kusooka kugiyisa mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Africa nga bano be basalawo okugiweereza mu kkooti eno. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka