TOP
  • Home
  • Busoga
  • Enteekateeka z'okuziika Bajagaali ziwedde

Enteekateeka z'okuziika Bajagaali ziwedde

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

AB’E Busoga nga bategeka okuziika Nabamba Bujagali ku Ssande ekiro, bbeeyi y’enkoko n’ebisolo ng’embuzi n’endiga bagirinnyisizza mu byalo ebyetooloddewo.

Bujagali1 703x422

Abaswezi nga bazina balinnya mu musaayi.

Bya TOM GWEBAYANGA

AB’E Busoga nga bategeka okuziika Nabamba Bujagali  ku Ssande ekiro, bbeeyi y’enkoko n’ebisolo ng’embuzi n’endiga bagirinnyisizza mu byalo eby’etooloddewo.

Abasamize abagendayo okumukungubagira nga n’abamu abadde abajjanjaba balina obukwakkulizo n’emizizo bye batuukiriza ng’okukikola basaddaaka ebisolo n’enkoko.

Okusinziira ku Katuukiro w’Obwa  Bujagali bwa Kira, Waiswa Muyiri, enkoko ekitulazi ebadde agula 15,000/- kati eri ku 25,000/- , empanga ziri wakati wa 25,000/- ne 45,000/- ng’ate embuzi ezibadde zigula wakati wa 60,000/- ne 100,000/-, zaalinnye nga kati ziri wakati wa 90,000/- ne 150,000/-, okusinziira ku bunene.

Ng’ebbeeyi y’enkoko eyongera okwekanama, n’enteekateeka z’okulonda anaamusikira zigenda mu maaso.

Obukwakkulizo obuliwo, okukakasa nti oyo ye mutuufu anaddira Bujagali mu bigere, bajja kusooka kumukubira ng’oma azine alinnye mu muliro gwe bakumyewo nga tegumwokya olwo bamukoleko emikolo emirala.

Obwakyabazinga bwa Busoga bwataddewo akakiiko okukola ku nteekateeka z’okuziika nga kakulirwa minisita w’ebyobuwangwa n’ennono, Richard John Mafumo.

Eggulo baatuuzizza olukiiko okusonda ssente ezinaakozesebwa mu mikolo egyetaagisa n’okuttaanya enteekateeka endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...