TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana bakubye bakitaabwe amabeere lwa nkaayana za ttaka

Abaana bakubye bakitaabwe amabeere lwa nkaayana za ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

BAMULEKWA batabukidde abakuza okuli ne bakitaabwe abato ne babaggyirayo emiggo n’okubeeyambulira nga babalumiriza okwagala okutunda emmaali ya kitaabwe gye yabalekera.

Bere1 703x422

Bamulekwa nga beeyambulidde bakitaabwe.

Olutalo luno, lwabadde ku kyalo Katuuso mu muluka gw’e Buziga e Makindye mu Kampala ku Lwokuna akawungeezi abakuza okwabadde baddokita, omukungu okuva mu maka g’Obwapulezidenti n’abalala bwe baalumbye bamulekwa babagobe ku ttaka.

Ettaka kwe baabadde babagoba liweza yiika bbiri n’ekitundu nga kuliko amaka, ennyumba z’abapangisa n’amaduuka.

Amina Nassolo omu ku bamulekwa eyakulembeddemu banne okugobaganya bakitaabwe yagambye nti, olukwe lwonna, lukulemberwa kitaabwe Moses Kagimu Gava kyokka nga ye teyabaddewo ng’olutalo lukoledde. Moses Kagimu Gava, mukozi mu kkampuni y’amasimu eya K2.

Abalala be balumiriza; ye Mariam Namayanja okuva mu maka g’Obwapulezidenti, Dr. Badir Buwembo omusawo w’e Mulago, Dr. Mohammad Kakande, Jamir Ssembajjwe, Adam Kagimu n’abalala.

Nassolo yagambye nti, kitaabwe Mohammad Kasule Gava, yali avuga nnyonyi era yafa emyaka 20 egiyise.

Agamba nti, yalina abakazi basatu nga buli omu yamuzimbira amaka agage era yali yabagabira ebintu buli mukyala.

Abakyala ababiri, baafa dda abaana be baaleka ne batunda ebintu byabwe ne biggwaawo.

 mu ku bakuza nga bamulirika emigoba nte Omu ku bakuza nga bamulirika emigoba nte.

Yagasseeko nti, nnyaabwe Safiina Nalukwago yafudde nga July 12, 2019 kyokka olwamaze okumuziika, abakuza baabwe ne babawa wiiki emu yokka nga baamuse ennyumba.

OLUTALO LUBALUKAWO

Nassolo ne baganda be bagamba nti, abakuza baagenze mu maka ne batuuza olukiiko kyokka terwabadde lwa kubayamba nga bamulekwa wabula lwabadde lugendereddwaamu kubagoba waka.

Nassolo yagambye nti, bakitaabwe baabadde n’ekiwandiiko okuva ewa Namayanja nga kibalagira okuva mu nnyumba.

Yagambye nti, Namayanja naye mu lukiiko yabadde wa kubeeramu kyokka yatuuse batandise okulwanagana. Isaac Kabuye omwana omulala mu maka gano, yagambye nti, ekigenderwa kya bakitaabwe, kyabadde kya kutunda ttaka kyokka nga balina kusooka kubagoba waka.

Yagambye nti, bakitaabwe baabeegaana dda era baabasaba n’omusaayi bagende bagukebere n’agamba nti, talaba nsonga lwaki ate baabadde bakyakaayanira emmaali yaabwe.

Erias Magezi omwana omulala yagambye nti, ettaka lino lya nnyaabwe Nalukwago era ono okulifuna, kitaabwe yamala kwewola ssente mu bbanka ne zimulemerera okusasula n’asaba mukyala we, Nalukwago atunde ettaka lye yali alina ewaabwe banunule ery’e Katuuso.

Yagambye nti, bwe yamala okulinunula mu Greenland Bank eyali eritwala, yasalawo okuwa Nalukwago obuvunaanyizibwa bwonna ku ttaka lino.

Bano baalaze n’ebiwandiiko ebiwa nnyaabwe obuyinza okukola kyonna ky’ayagala ku ttaka lino.

 ekwa ngawuttula eyawerekedde abaabadde bazze okubagoba awaka Mulekwa ng’awuttula eyawerekedde abaabadde bazze okubagoba awaka.

 

Abakuza baabakubye emiggo nga bakirako abakuba abaana abato nga bwe babalagira okuva ku ttaka lyabwe obutaddamu kulinnyawo kigere. Akulira ebyokwerinda ku kyalo yabadde ayitiddwa mu lukiiko kyokka naye abaana baamututte talinnya.

Abaana baalumiriza abakulembeze ku kyalo okwekobaana n’abakuza okubba ettaka lyabwe.

Wabula ssentebe w’ekyalo kino, Edith Kyosimire bwe yatuukiriddwa yagambye nti, olutalo we lwabeereddewo teyabadde ku kyalo nti kyokka ensonga za ffamire eno, bazituddemu enfunda eziwera nga tebakkiriziganya.

ABAKUZA BOOGEDDE

Kasule Gava omu ku bakuza yagambye nti, abaana abasinga abagamba nti, ba muganda we, tebabamanyi kubanga baabasaba dda omusaayi bakebere ne bagaana.

Yagambye nti, bamanyiiko abaana babiri bokka ate nga be bato abasembayo n’ategeeza nti, abalala bannakigwanyizi abaagala okufuna omugabo gwe batagwanidde.

Abatuuze baavumiridde ekikolwa ky’abakuza okwagala okugobaganya bamulekwa mu maka ga bakadde baabwe nga bagamba abaana bonna bakulidde awo nga tewali nsonga lwaki babagobaganya ng’abazadde baabwe bamaze okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...