TOP

Obuwangwa n'ennono ebyamenyeddwa ku mukolo gwa Rema

Added 16th November 2019

Abagole baakyusizza engoye emirundi etaano nga ne mu bakyusa mwe muli n’omuko. Si kyabulijjo omuko okukyusiza engoye ku buko n’okusiibula ku ssaawa 4:20 ez’ekiro era Omutaka Kayiira Gajule yalambise nti, mu Buganda omuko teyeeyambulira ku buko.

1 Abako baatuukidde mu nnyumba Hamza Sebunya ne basooka kumuzaala okujja mu luggya.

2 Abagole baakyusizza engoye emirundi etaano nga ne mu bakyusa mwe muli n'omuko.

3 Ekisambi ky'ennyama tebaakitadde mu kibbo, baabajjisizza bookisi eriko ebikonda bye basitula ng'ekisaanikira kirimu ekituli omuyita ekirenge ky'ente ne kirengejjera wabweru.

4 Okwanjula kwabaddeko emperekeze.

5 Si kyabulijjo omuko okukyusiza engoye ku buko n'okusiibula ku ssaawa 4:20 ez'ekiro wabula Omutaka Kayiira Gajule yalambise nti, mu Buganda omuko teyeeyambulira ku buko.

6 Buli Mugenyi eyatuuse ng'asooka kulya mmere ne balyoka bagenda mu kidaala awaabadde omukolo. Kino kitera kubeera ku mikolo mu bitundu ebiri ebweru wa Buganda.

7 Nnaabagereka yatuuse ku mukolo ng'essaawa zikunukkiriza okuwera 7:00 mu ttuntu era n'awaayo obudde okuweesa omukolo ekitiibwa, n'avaawo ku ssaawa 1:15 akawungeezi.

8 Ebirabo bye baaleese baabigabidde mu kidaala nga basoma erinnya ne bategeeza gwe bawadde ekirabo ne bongerezaako embuzi.

 

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...