TOP

Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo obukadde 200!

Added 17th November 2019

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka mu nkola emisono gy’engoye.

 Abagole baayase mu byambalo

Abagole baayase mu byambalo

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n'okuteeka mu nkola emisono gy'engoye.

Mu bimu ku byasinze okucamula abantu z'engoye ez'omulembe ze yayambadde era ono yakyusizza emirundi etaano.

Kentalo owa Talo Couture Collection yagambye nti engoye Rema ze yayambadde mu kwanjula e Nabbingo, ze yayambala mu kukyala ewa Ssenga ne ku kabaga ka ‘Introduction Shower' mikwano gye ke gyamukolera nga gimusiibula mu butongole, zonna zaali mu nteekateeka y'emu era nga omugatte okwambala Rema yasaasaanyizza obukadde nga 200.

Yagambye nti obutaala bwokka obwateereddwa mu kiteeteeyi kye yafulumiddemu ng'aleeta'kabbo ka muwala' yabusaasaanyirizzaako obukadde 12.

"Nga ttiimu okuli n'omugole tubadde tutuula ne tukubaganya ebirowoozo okulaba nga tuvaayo n'emisono emirungi egiyinza okulabisa omugole waffe nga wanjawulo era owebbeeyi.

Abamu twalinnya n'ennyonyi ne tugenda naye emitala w'amayanja gye twaggye ‘matiiriyo' mwe twatunze engoye ze yayambadde."

Kentalo yategeezezza nti emisono gya Rema yagiggye mu nsi ez'enjawulo okuli; America, Yitale, Trkey, Pakistan n'awalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.