TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo: Laba obubadde bwe baatadde ku mukolo gwabwe ekyagufudde ogwenjawulo

Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo: Laba obubadde bwe baatadde ku mukolo gwabwe ekyagufudde ogwenjawulo

Added 17th November 2019

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye langi enjeru, enzirugavu, siriva ne zzaabu.

 Hamza ne Rema mu byambalo by’ekinigeria. Emabega ze mperekeze zaabwe.

Hamza ne Rema mu byambalo by’ekinigeria. Emabega ze mperekeze zaabwe.

ENNYAMBALA Y'ABAGOLE

Abagole baakyusizza emirundi ena era nga buli lwe bazzaayo olabira ddala nga be bagole.

 ema ngaboobedde mu gomesi enjeru nekitambaale ekya kiragala Rema ng'aboobedde mu gomesi enjeru n'ekitambaale ekya kiragala.

 

Omulundi ogwasoose, Rema yayambadde gomesi enjeru n'ekitambaala ekya kiragala olwo Hamza n'ayambala ekkanzu y'omuleera ogwabaddemu kiragala n'ekkooti y'ekivubuka (braizer) eya kiragala ng'eriko ne bbaasikooti.

Olwo entalabuuzi eyabadde enzirugavu yabaddeko ekimuli ekya siriva ekyabadde kifaanagana n'ekimuli ekyabadde kitobekeddwa mu kitambaala kya Rema.

Ku mulundi ogwokubiri, ekkanzu ya Hamza yabadde n'omuleera ogwa ppinki ow'amazzi n'ekkooti eya zzaabu ow'amazzi n'ekimuli ekya zzaabu.

Bino byakwataganye bulungi ne gomesi ya Rema eyabadde eyakaayakana mu siriva.

Gomesi n'ekitambaala byabadde bifaanagana wabula nga ku kitambaala baatungiddeko langi eya ppinki ow'amazzi.

Omulundi ogwokusatu baayambadde Kinigeria mu langi eya bbulu.

Rema yayambaliddeko enkoofi ira ekoleddwa ng'ekitambaala.

Wansi baatungiddeyo akatimba akawanvu.

Eby'omu bulago byalukiddwa na ngalo ssaako akakoofi ira Hamza ke yayambadde.

Kuno Rema yakwatiddeko ekyoya ekiwujja empewo ekya langi enjeru ng'ekwatagana n'eby'omu bulago n'ebikomo.

Omulundi ogwasembyeyo, Rema yayambadde ekiteeteeyi ekigazi ekyabadde kyakaayakana mu langi eya kakobe ow'amazzi.

Hamza yayambadde kakobe ne langi enzirugavu.

 ano nga bakyusizza omulundi ogwokubiri Wano nga bakyusizza omulundi ogwokubiri.

 

EBYENJAWULO KU NGOYE ZE YAYAMBADDE

Kentalo yagambye nti okwambala kiragala n'enjeru nga ku mutwe bamutaddeko akatimba baakikoze okuggyaayo ekitiibwa ky'omugole .

Ku gomesi eyookubiri eyabadde eyakaayakana, baagitungiddeko akatimba akatangalijja ku mikono mu kifuba ne wansi okugifuula ey'enjawulo.

Ekyambalo ky'ekinigeria baakiggya bweru, olwo dizayina amanyiddwa nga Abas eyayambazza Hamza n'emperekeze n'akyongeramu ebirungo.

Ate ekiteeteeyi kye yasambye okwambala nga kyaka obutaala, Kentalo agamba nti wadde kyacamudde bangi, naye ogwo omusono guluddewo lwakuba baagwongeddemu ebirungo okuguzzaa obuggya n'okutuukana n'omulembe.

Obutaala buno nga bulina eppeesa ly'onyiga ne bwaka, bwagulibwa bwokka e Turkey, wabula bwe bwalema okukola kyennyini kye baali baagala, oluvannyuma baabutwala e Yitale okubwongeramu olwo ne bulabika nga bwe baali baagala.

 byambalo bye baasookeddemu Ebyambalo bye baasookeddemu.

 

BAAYIIYIZZA

Christine Kisakye omukugu mu by'emisono ng'akolera mu Kampala yagambye nti eyayambazza abagole yakoze okunoonyereza okw'amaanyi n'okuyiiya okulaba nga baba banjawulo ddala.

" Okugeza yatututte e Nigeria n'atulaga ennyambala yaayo ey'obuwangwa naye obutayagala ate kulabika ng'Abanigeria, n'agattako ekikweya nga kiwanvu ddala ekyayongedde okulufuula olw'omugole.

Ekirala langi zaabwe naddala enjeru ne kiragala zaakwataganye ne langi z'eddiini y'Ekisiraamu entongole.

Enviiri za Rema zaabadde za kigero emisono gye yakoze tegyabadde gya bulijjo era zaayerudde bulungi ekyenyi n'anyuma.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...

Bannansi ba Rwanda bakwatid...

POLIISI ekutte bannansi ba Rwanda 32 ababadde bakoze olukiiko e Mityana mu ngeri emenya amateeka. Baasangiddwa...

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.