TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ebirungo ebiremezza ennyimba za Philly Lutaaya ku ntikko mwaka ku mwaka

Ebirungo ebiremezza ennyimba za Philly Lutaaya ku ntikko mwaka ku mwaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

BULI December ng’omwaka gunaatera okuggwaako, omuyimbi Philly Bongole Lutaaya azuukira. Erinnya lye livuga. Litandika nga December 1, nga bakuza olunaku lwa siriimu. Luno oluggwa ennyimba ze ezaaniriza n’okuteeka abantu mu ggandaalo lya Ssekukkulu ne ziyingirawo.

Philly1703422 703x422

Omugenzi Philly Lutaaya

Mu kiseera kino nga tusemberedde okujaguza Amazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu, ennyimba za Ssekukkulu ziwamba emitima gy’abantu era kumpi buli w’oyita mu bibuga, ebyalo mu bifo ebisanyukirwamu n’ebisulwamu owulira myuziki w’ekika kino ng’afubutuka mu bunyomero obw’enjawulo.

Waliwo n’abaziteeka mu masimu gaabwe nga ‘lingi toniizi’. Wadde ng’abayimbi bangi bagezezzaako okuyiiya n’okufulumya ennyimba za Ssekukkulu, wano mu Uganda n’okutuusa kati ennyimba z’omugenzi Philly Bongole Lutaaya ze zikyasinze okwettanirwa mu budde buno wamu n’eza Bonny M. Wano abagoberera n’okwettanira ekisaawe ky’okuyimba we basinziira okwebuuza lwaki ennyimba za Philly ne Bonny M ze baafulumya edda n’okutuusa kati ziremedde ku maapu era zettanirwa Bannayuganda mwaka ku mwaka.

Tukulaze n’ensonga lwaki ennyimba za Bannayuganda empya ziremeddwa okukwatayo.

PHILLY BONGOLEY LUTAAYA

Yazaalibwa October 19, 1951 n’afa nga December 15, 1989. Mu 1988 yafulumya ennyimba za Ssekukkulu nga zino Bannayuganda bwe bataziwulirako tebakkiriza nti Ssekukkulu etuuse.

Mu zino mulimu: Tumusinze, Gloria, Merry Christmas, Azaalidwa, Zuukuka n’endala.

 bayimbi bekibiina kya onny  alina ennyimba za sekukkulu ezitagwa bbeeyi Abayimbi b’ekibiina kya Bonny M. Balina ennyimba za Ssekukkulu ezitagwa bbeeyi.

BONNY M

Ekibiina kino kyatandikibwawo Omugirimaani Frank Farian mu 1976. Yakwataganya abayimbi bana nga kuliko Abajamaica babiri, Liz Mitchell ne Marcia Barrett ate Maizie Williams yava mu West Indies mu bizinga by’e Caribbean ate Bobby Farrell n’ava ku kyalo Aruba mu bizinga by’ebimu.

Mu 1978 baakuba ennyimba za Ssekukkulu ezaakulemberwa olwa Mary’s Boy Child, olwatunda obutambi 1,800,000 nga ku bwo, 1,600,000 bwatundibwa mu mwezi ogwasooka. December we yatuukira nga lwe luyimba olusinga okutunda mu Bungereza.

Ennyimba za Bonny M eza Ssekukkulu endala kuliko: Little Drummer Boy, White Christmas, Feliz Navidad, Jingle Bells, Winter Fairy Tale, Christmas Medley, Petit Papa Noel, Zion’s Daughter, When a Child Is Born, I will be home for Christmas n’endala.

Twayogedde n’abamu ku bakugu mu by’okuyimba n’abaludde nga bagoberera ensiike eno ne batubuulira lwaki ennyimba za Lutaaya eza Ssekukkulu zettanirwa nnyo n’ebirungo bye yaziteekamu okusinga ez’abayimbi abaliko.

MOSES MATOVU

 muyimbi oses atovu agamba utaaya ennyimba yali aziwa obudde Omuyimbi Moses Matovu agamba Lutaaya ennyimba yali aziwa obudde.

 

Ono yakulira Afrigo bandi era omu ku bayimbi abaludde mu nsiike y’okuyimba mu ggwanga ng’ate n’omuziki agutegeera era oyinza okumuyita ‘Jjajja w’abayimbi’’.

 “Ennyimba za Lutaaya ziraga enjawulo wakati w’omuyimbi ow’ekitone n’owa situdiyo bulijjo be njogerako. Wadde abayimbi bangi naye si buli muntu nti muyimbi. Abamu tekinologiya y’abafuula abayimbi. Kati omuntu alowooleza mu mbeera eno tasobola kukola kintu kya buwangaazi.

Ennyimba zirimu ebika era si buli muyimbi nti asobola okuyimba ennyimba za Kulisimansi. Kino nakyo kiba kitone kubanga ziba za njawulo era y’ensonga lwaki olaba nti wadde bangi baziyimbye naye tezirina we zituuse.

 Lutaaya yali musajja mukugu amanyi okuyimba ate ng’awaayo obudde okukola ekintu ekirungi. Yali amanyi okwebuuza ku bantu naddala abamusingako okulaba nti akolera ddala ekyo ekirungi.

 Ekiremesezza ennyimba z’abayimbi b’ennaku zino lwakuba tebafuddeeyo kuyiiya zaabwe, badda mu nkadde, ne kibaleetera okunafuwa mu kuyiiya ate nga tebasobola kuziyimba bulungi nga bannannyini zo.

 Bw’otunuulira embeera abantu abaaliwo mu gy’enkaaga oba egy’ensavu gye baakuzangamu Ssekukkulu n’ab’ennaku zino bya njawulo kale gwe ng’omuntu osobola okusinziira wano n’oyiiya ekyenjawulo ku kya ba Philly ng’otunuulira embeera eriwo kati.”

 Yagasseeko nti n’abakuba ennyimba ku leediyo nabo tebayambye kutumbula nnyimba za bayimbi abaliwo kati kuba baalemeramu ‘looko’ y’ennyimba ez’edda.

JOSEPH BATTE

Ono munnamawulire, aludde ng’agoberera ensiike y’okuyimba n’abayimbi ssekinnomu.

“Wadde abayimbi bayiiyizza ennyimba za Ssekukkulu, kizibu okumenyawo eza Philly kubanga yawangayo obudde n’okwebuuza ku bakugu nga tannafulumya nnyimba ze. Kyamutwalira kumpi omwaka mulamba okufulumya olutambi lwa Ssekukkulu.

 Abayimbi baffe be tulaba nga abaliko kye beerabira kiri nti empadiika y’ennyimba za Ssekukkulu eyawukana ku nnyimba eza bulijjo. Olina okubeerako mwoyo oba okuyingira mu mbeera eyo okuggyayo obulungi ky’owandiikako.

 Oluyimba okunyuma kitandika naawe omuwandiisi nga terunnaba kutuuka mu bapulodyusa. Lutaaya we yawandiikira ennyimba za Ssekukkulu yali amaze okulwala era ng’amanyi agenda kufa.

Yali amaze okukkiriza Katonda era ng’aliko mwoyo n’akola ekintu kye yayagala kisigalewo emyaka n’emyaka nga kinyumira abantu ate nga kya mulamwa kwe bannaamujjukirira.

Mu bufunze yakola ennyimba zino nga ziva ku mutima so ssi kuyiiyiriza nga bannaffe abamu bwe bakola era y’ensonga lwaki bw’owuliriza oluyimba lwa Lutaaya owulira nga naawe okwatiddwaako oba lukutadde mu mbeera eyo.

 Lutaaya yali tanoonya ssente. Yakolera abantu ekintu ekigenda okubatwaliriza emyaka n’emyaka naye abayimbi b’ennaku zino bamala gafulumya nnyimba nga banoonya okufunamu ssente ez’amagu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo