TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Engeri Mukoka gye yakuluggusizza emmaali ng’abasuubuzi mu Kampala nga balaba!

Engeri Mukoka gye yakuluggusizza emmaali ng’abasuubuzi mu Kampala nga balaba!

By Moses Kigongo

Added 16th December 2019

Enkuba eyakedde okufukumuka ku Lwomukaaga yavuddeko mukoka ow’amaanyi okukuluggukira mu maduuka g’abasuubuzi omwabadde; agasabgibwa ku Blue Room, Qualicel, Nabukeera, Ddembe ne ppaaka enkadde era abasuubuzi abasoba mu 500 ne bafiirwa emmaali yaabwe omwabadde; engoye, engatto, ensawo ebyokwewunda by’abakyala n’ebirala bye baabadde bategekede bakasitoma baabwe ababinoonya mu nnaku enkulu.

Rainqualicel1 703x422

Ebifaananyi bya Moses Kigongo

ABASUUBUZI bakaabye n’okulaajana nga balaba emmaali ya Ssekukkulu gye baabadde bapakidde mu maduuka gaabwe mukoka egitwala.

Enkuba eyakedde okufukumuka ku Lwomukaaga yavuddeko mukoka ow’amaanyi okukuluggukira mu maduuka g’abasuubuzi omwabadde; agasabgibwa ku Blue Room, Qualicel, Nabukeera, Ddembe ne ppaaka enkadde era abasuubuzi abasoba mu 500 ne bafiirwa emmaali yaabwe omwabadde; engoye, engatto, ensawo ebyokwewunda by’abakyala n’ebirala bye baabadde bategekede bakasitoma baabwe ababinoonya mu nnaku enkulu.

Abamu ku basuubuzi okwabadde Mary Namugambe ne Meddie Kasozi (abatunda ensawo z’abakyala ku Qualicel) baakukkulumidde KCCA ne kkampuni ya Sterling olwa kye baayise okuzimba emyala emifunda ku luguudo lwa Namirembe (olukolebwa mu kifo kino) ekiviiriddeko mukoka okubulwa w’ayita n’awaguza mu maduuka gaabwe.

 

Era ne basaba abakungu ba KCCA abalondoola emirimu okuvaayo bazuule oba pulaani y’oluguudo luno eyayisibwa y’egobererwa okutaasa abasuubuzi abakolera okumpi n’ekifo we luyita.

“Abalukola twabagamba nti bataddemu obwala butono obutasobola kutambuza bungi bwa mazzi agawanuka ku kasozi k’e Namirembe naye tebaatuwuliriza era tugenda mu kkooti”, Musa Lutwama bwe yagambye.

Baategeezezza nti, buli nkuba lw’etonnya bafiirwa emmaali kubanga omusenyu n’ettaka ebyeyambisibwa okukola oluguudo luno bizibikira obwala amazzi ne ganjaala mu maduuka gaabwe.

alt=''
 

KU BLUE ROOM

Mu ngeri y’emu, omwala omunene ogubadde gusimibwa emabega w’ebizimbe bya bbanka ya Centenary Bank ne ppaaka ya ttakisi ku Namirembe Road gwayabizzaamu ekizimbe ky’omugagga Pius Mugalaasi ne kigwa.

Kyayabiseemu ebitundu bibiri era abantu abaakibaddemu n’abakibadde okumpi baasimattukidde watono okufa.

Bayinginiya b’ekitongole kya Gavumenti eky’amazzi ne kazambi babadde basima omwala bayiseemu ebigoma ebinene n’okwawula kazambi ava mu bizimbe bya bagagga okuva ku midumu egitambuza amazzi ekizimbe ne kyabikamu bibiri.

Kino kyatabudde abamu ku bakulembeze mu kitundu okwabadde kkansala William Ssemakula atwala omuluka ogwo ku ggombolola ya Kampala Central ne bagamba nti, ekizimbe kibadde kikadde era baagala omulimu gugende mu maaso n’okukolebwa.

 

Yawagiddwa ssentebe wa Central zooni Charles Oboth yategeezezza nti, KCCA esaana ekebere oba ebizimbe mu kitundu ekyo biri ku pulaani kyokka nga bwe bakebera, baagala okukola oluguudo kusigale nga kugenda mu maaso.

Kyokka abatuuze abalala balumbye bayinginiya b’ekitongole ky’amazzi okumala gasima omwala nga tebatunuulidde bizimbe bya bantu mwe bakolera.

“Tosobola kusima mwala muwanvu kumpi na kizimbe kya muntu nga tomaze kukakasa nti, tekigenda kukosebwa”, James Taabalamule bwe yagambye.

Abalala baalumbye kkampuni ya Abubaker Technical Services ekola oluguudo luno okulwawo okulumaliriza n’okuleka ebinnya nga byonna bibikkule kyokka kkansala n’abawabula nti ekibadde kisibye, be bayinginiya b’amazzi abateekwa okusooka okuyisaamu omudumu.

Nannyini kizimbe Pius Mugalaasi owa kkampuni ya Mugalaasi Holdings yagambye nti bayinginiya baakoze ensobi nnene okusima okumpi n’omusingi gw’ekizimbe ne kiyiika. “Ekitongole kiteekwa okusasula ekizimbe kyange.

Buli yinginiya kino akimanyi nti bw’oba osima okumpi n’ekizimbe oteekwa okwegendereza n’otayonoona bintu era bw’oyonoona osasula”, Mugalaasi bwe yagambye.

Yayombye nti ekkubo erimanyiddwa eryandibadde liyamba ebizimbe byonna ebiri mu kitundu ekyo, KCCA yakkiriza abagagga ne balizimbamu era omusango guli mu kkooti wakati wa kkampuni ya Mugalaasi Holdings Ltd. ne KCCA ogusaba ebizimbe bimenyebwe.

 

KCCA KY’EGAMBA

Yinginiya wa KCCA Andrew Sserunjogi yategeezezza nti, balagidde kkampuni ya Sterling Construction eyakwasibwa pulojekiti y’okukola oluguudo lwonna olwa Namirembe okuva ewa Bakuli okutuuka ku luguudo lw’e Ntebe ezibukule emyala kubanga gijjuddemu ettaka erizibikidde mukoka obutatambula.

Ku kizimbe ekyagudde, yagambye nti bagenda kwetegereza entabwe kwe yavudde kyokka kino tekigenda kuyimiriza mulimu ogugenda mu maaso era n’asuubiza nti, bagenda kwogera ne nannyini kyo ne bayinginiya ba KCCA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...