TOP

Abanene 5 bavudde ewa Bugingo ne beegatta ku Teddy

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2020

ABANENE bataano ababadde mu kkanisa ya Bugingo, beegasse ku Teddy mu kkanisa empya gy’atongozza ne battottola ebyabawalirizza okusala eddiiro.

Buuka 703x422

Abaayabulidde Paasita Aloysius Bugingo kuliko; Charity Agaba, Charles Kyomu, Adams Kakuba, Susan Nabukenya ne Rosemary Komugisha era nga bonna babadde n’obuvunaanyizibwa obwabaweebwa mu Kkanisa ya Bugingo eya House of Prayer Ministries International e Makerere – Kikoni.

Baagambye nti babadde tebasobola kugumiikiriza bikolwa bya Bugingo ebitassa kitiibwa mu bufumbo Obutukuvu era ebiwagira obwenzi mu nnyumba ya Mukama; ne bagattako nti kibadde kibakuba ensonyi okuwulira Omusumba waabwe nga by’abuulira ate ye si by’akola.

Baasinzidde ku Hotel Triangle mu Kampala ku Lwomukaaga, Teddy Naluswa mukazi wa Bugingo ow’empeta bwe yabadde atongoza ekkanisa ye empya gye yatuumye “Word of Salvation Ministries International”.

Entabwe yava ku Bugingo kufunayo muwala mulala, Susan Makula Nantaba era n’ava ne mu maka gaabwe ne Teddy agali ku lw’e Ntebe, n’agugumula kalina e Wakiso mw’ategeka okubeera ne Makula.

Rosemary Komugisha: Y’omu ku babadde bavunaanyizibwa ku byensimbi mu Kkanisa ya Bugingo era yagambye nti nga January 1, 2020 lwe yasazeewo okuva ewa Bugingo yeegatte ku Teddy; era yattottodde bw’ati:

Embeera bwe yatabuka nga alaga nti akooye Teddy ne tumutuuza wabula yatuvuma buvumi n’atusaba oba tuva ku kkanisa ye tuveemu.

Yateekawo ehhombo nti Teri agaana ayingira era teri agaana afuluma. Nnasooka ne ngumirayo nga bwe nsaba Mukama atuvvuunuse ebizibu bino. Teddy ne bw’aba yamusobya, naye alina okusonyiwa kubanga y’enjiri gy’abuulira naye kati emyaka gigenda mu 4 alaga nti tasonyiwa. Tetukyamulabira mu kifaananyi kya Musumba wabula tulaba omuntu akola ebimusanyusa mu nsi nga tafuddeeyo ku ggulu.

Susan Nabukenya:

Nnasooka okumanya Bugingo nga tukyakuba amasimu ku leediyo ya Impact FM (eya Joseph Serwadda) era ne tumulonda okuba Ssentebe waffe mu kibiina kya Impact Fans Club olw’okuba yali akuba nnyo amasimu.

Yatandika okuweereza ewa Sserwadda gye yava n’atutegeeza nti Katonda yaleese amawulire amalungi agenda kuggulawo ekkanisa. Twasanyuka era ne tumusaba tuweereze naye kuba yali musajja ayagala ennyo Katonda.

Twatandika obuweereza mu ssanyu era abagoberezi bangi ne bajja. We baafunira obutakkaanya ne Teddy, nze saabimanya wabula olunaku lwakya ne wabaawo munnange ahhamba nti Paasita yafunye omuwala gw’ayagala.

Kino kyankanga ne ntuukirira Bugingo ne mmusaba okumusisinkana tubeeko bye twogera. Bwe nnamusisinkana ne mugamba nti, “Paasita nnawulidde nti olina omuwala gw’oyagala”! Kyankuba entiisa, bwe yanziramu nti, “Bye wawulidde bituufu.” Waayita akaseera katono n’atandika okusinziira ku katuuti okuvuma Teddy n’okumukonjera nga bwe yeekobaanye ne bawala be babbe ettaka ly’Ekkanisa, naye ng’ekimukozesa ekyo kukyayisa Teddy mu bagoberezi, afuule omuwala gwe yafuna omuganzi – kye nnalaba nga tekiriimu Katonda.

Charity Agaba:

Mbadde mukadde wa kkanisa ya Bugingo era ffe twatandika naye nga tulaba enjiri gy’abuulira eri ku musingi gwa Bayibuli; okutuusa ebintu lwe byakyuse omwaka oguwedde. Ebikolwa Bugingo bye yakola Teddy okuli obwenzi, obukyayi, okuvuma n’okukyusakyusa ebyawandiikibwa agguse by’aba ayagala okukola ng’omuntu; awo ffe abamu ne tulaba nga tetukyalina njiri ya ssuubi gye tufunayo. Mikwano gyange bangi be mbadde nsaba nabo ewa Bugingo baavaayo era Teddy okuggulawo ekkanisa kijja kuyamba bangi abakyakkiririza mu njiri eteriimu bunnanfuusi.

Adams Kakuba:

Nze ssaabawandiisi w’akatale ka Owino era mbadde mukadde wa kkanisa ewa Bugingo naye twetamwa Bugingo ekiseera ne kituuka nga byabuulira tulaba si bya Mukama naye bibye nga muntu.

Okuvuma ekitonde ekikazi, okwanika eby’omu nju, okukola obwenzi mu lujjudde, twatuuka ne tulaba nga ffe tuswala ng’abakadde b’ekkanisa.

Omuntu bwaba ng’abakubiriza okwagala abaagalwa bammwe ate ye n’asuulawo amaka ne yeenyigira mu bwenzi n’atuuka n’okukasuka empeta, ffe abamu kyatulaga nti takyali Musumba wabula awaluddwa ebikolwa bya sitaani era nze bwe nnabiraba ne bannange ne tusalawo okwabulira ekkanisa ye.

Ng’abakadde b’ekkanisa, twafunanga lipoota nti buli ayogera ku Susan Makula, oyo nga Bugingo amugoba ne twewuunya

Charles Kyomu:

Nange nnali mukadde wa kkanisa ya Bugingo ate Teddy mwannyinaze naye mu kusooka Bugingo namwagala ng’omuntu wabula saamanya nti gye nkomye okumwagala ate gye nnaakoma okumukyawa. Bye yakola teyaswala yekka wabula naffe Abalokole twaswaliramu.

Bino we byabererawo nnayita abakadde b’ekkanisa bonna ne tubaako bye tuteesa ku mbeera eno, wabula mba nfuluma Hotel Bugingo n’ankubira essimu n’angamba nti “Oli mukadde w’ekkanisa naye amaka gange geesonyiwe, kola ebikukwatako.” Mu bbanga ttono nnali nvuddeyo.

Jessica Kayanja nga ye yalungamya ennyo Teddy mu kiseera ekizibu kye yali ayitamu, bwe yabadde ayogera yagambye bwati. “Nkwebaza okuba ng’oyimiridde n’ogamba nti sijja kunoba wadde munno yanoba, nogamba nti sijja kwenda, wano munno yayenda, nogamba nti sijja kulekawo baana wadde munno yabalekawo, n’ogamba nti sijja kwogera bya munju wadde munno yabyogera. Bino biraze obumalirivu bw’olina ng’omukyala atya Katonda era Mukama waakukukolera eby’Obutukuvu.” bwe yayongeddeko.

TEDDY AKOLOKOSE BBA

Teddy yayogeredde wakati mu mizira nga yasoose kwebaza Katonda amuwaniridde mu buzibu bw’ayitamu era ne yeebaza abamubeereddewo. Oluvannyuma yakyukidde Bugingo n’agamba nti: Lwaki olimbira mu njiri ng’ate by’okola bya buyaaye, olwo oba osumba biki? Okukola obwenzi kye kimu ku Katonda bye yakutuma? okukola mu buweereza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono