TOP

Museveni alabude abayigganya abawagizi ba NRM

By Muwanga Kakooza

Added 11th January 2020

‘’Abiriga ( Ibrahim eyali omubaka wa Arua mu palamenti) baamutta lwa (lwa kuwagira NRM ) kuba yali ayambala kyenvu. Lwaki otta omuntu !. Otte omuntu olw’okuba akuwangudde mu kukubaganya naye ebirowoozo !. Mu Kampala osanga abawagizi ba NRM babalumba.

Ant7 703x422

PULEZIDENTI Museveni agambye nti singa waaliwo ekkubo ly’okuteesa ne gavumenti tebandikutte mmundu kugenda mu nsiko mu myaka gy’ekinaana n’asomooza abalina bye batakkaanya na NRM bayitire mu kuteeseganya mu kifo ky’okulowooleza mu kusaawo obugulumbo.

‘’Abiriga ( Ibrahim  eyali  omubaka wa Arua mu palamenti) baamutta lwa (lwa kuwagira NRM ) kuba yali ayambala kyenvu. Lwaki otta omuntu !. Otte omuntu olw’okuba akuwangudde  mu kukubaganya naye ebirowoozo !. Mu Kampala osanga abawagizi ba NRM babalumba. Lwaki temukubaganya nabo birowoozo ?’’ Museveni bw’atyo bwe yebuuzizza n’agamba nti gavumenti nnyingi zizze ziyingirawo na kifuba kuba tewabaddenga mukisa gwa kuteesa.

‘’ Okuva mu ntalo  z’okuggyako Kabaka Muteesa II  mu 1966 zibadde mmundu. Amin (Dada) naye bwatyo bwe yayingirawo. Tewabaddenga kuteesa. Ffe bwe twajja ne tutandika okuteesa era ne bannyini ttaka tuzze tuteesa nabo’’ Museveni bwe yategeezezza e Birembo  mu Bunyoro ng’asiibula abantu abeetabye mu kutambula okuva e Garamba mu Wakiso .

Baatambudde kilomota 74 kwezo 195 ezaabadde zirina okutambulwa Pulezidenti n’agamba nti baabadde batambula kasoobo ng’abantu babayimiriza nga kijja kubatwalira ebbanga ddene okutuuka.

Museveni yategeezezza nti singa okuteesa kwali kusoboka okubeerawo mu myaka gy’ekinaana osanga tebandigenze mu nsiko.

Museveni yesogga ensigo n’abayekera ba NRA be yali akulira mu kiseera ekyo ng’alumiriza Milton Obote gwe yagenda okulwanyisa nti yabba obululu mu kulonda okwaliwo mu 1980.

Yafuna obuyinza mu 1986 oluvannyuma lw’okuggyako Gen. Tito Okello Lutwa. Museveni era yetaga mu ntalo z’okulwanyisa Idi Amin mu myaka gy’ensanvu.

Ku nsonga endala Museveni yabuuliridde abantu okwewala ettamiiro n’obwenzi ng’agamba nti bijja kubatwalako obulamu bwabwe. N’agamba nti musajja musajja mukadde  kyokka akyalimu endasi kuba obulamu bwe abukuuma bulungi.

‘’Buli w’ojjira nsobola okukwambalira. Oba oyagala lutalo osanga kwetegekedde nga butwefuka’’ Museveni bwe yagambye. Yakubirizza abantu okwekulakulanya n’asiima abajaasi abeenyigidde mu kulima.

Abantu abasoba mu 1500 kigambibwa nti be batuuse e Birembo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...