TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni akunze Bannaddiini okumwegattako mu kulwanyisa obwavu

Museveni akunze Bannaddiini okumwegattako mu kulwanyisa obwavu

By Henry Nsubuga

Added 12th January 2020

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yakunze Bannaddiini okulaba nga bamwegattako mu lutalo lw’alimu olw’okulwanyisa obwavu obukudde ejjembe mu Bannayuganda ensangi zino.

Mknah1 703x422

Dr. Rugunda ng’ayogera, okuva ku kkono ye Sheikh Kaire ne Amir w’e Tanzania, Tahir Mahmood Chaudhry. (Ekif. Henry Nsubuga)

Museveni yagambye nti entabwe evudde ku Bannayuganda abagaanidde kulima emmere ey’okulya yokka n’okulemera mu kulimisa obusimo obutalina kyamaanyi kye busobola kubayamba.

Ebyo byabadde mu bubakabwe bwe yatisse Ssaabaminisita w’eggwanga, Dr. Ruhakana Rugunda mu lukungaana olumanyiddwa nga Jalsa Salana olwa 32 olwa buli mwaka olwategekeddwa Abasiraamu ab’ekiwayi ky’Abahmadiyya e Seeta ku muzikiti gwabwe mu munisipaali y’e Mukono.

Rugunda eyatuuse e Seeta ku Lwomukaaga yayaniriziddwa omukulu w’Abahmadiyya mu Uganda ne Rwanda, Amir Muhammad Ali Kaire nga yawerekeddwako Minisita Mululi Mukasa.

Museveni yagambye nti okuleka nga Bannayuganda batandise okulima n’ekigendererwa eky’okufuna amakungula mu bungi ng’era bakozesa ebyuma nga ttulakita n’okufukirira we kyetaagisizza, kyakubabeerera kizibu okulwanyisa obwavu.

Yasiimye Abahmadiyya mu nteekateeka yaabwe ey’okubunyisa emirembe n’okwagala eri buli muntu mu ggwanga.

Museveni era yasiimye Abahmadiyya olw’emirimu gye bakola okuyita mu kitongole kyabwe ekya Humanity First Uganda omuli okuzimba n’okuyamba mu masomero,okutumbula mu by’obulamu, okubunyisa amazzi amayonjo, okudduukirira ababundabunda n’ebirala bingi.

Abhamdiyya okuva mu Uganda yonna beegattiddwako bannaabwe okuva e Kenya, Tanzania, Rwanda ne Ghana mu lukungaana luno olw’okumala ennaku 3.

Mu bubaka bwe, Kaire yasabye bannabyabufuzi mu ggwanga abali obulindaala okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu kulonda kwa bonna okubindabinda omwaka 2021 okulaba nga bassa ekitiibwa mu mateeka n’okwewala okutabangula emirembe.

Akulira ekisinde ky’abavubuka Abahmadiyya mu Uganda Abdul Marik Ssenfuka yategeezezza nti eddiini yaabwe tebakkiriza kwenyigira mu buvuyo bwonna wadde okwekalakaasa bwatyo n’asaba abavubuka okubeera ab’emirembe mu kisera kino eky’eby’onufuzi ebya kanaayoky’ani.

Wabula Ssenfuka yagambye nti bano baddembe okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Abakulira Ab’Ahmadiyya okuva mu mawanga ageebweru ageetabye mu Jalsa Salana eno kuliko owa Ghana Amir Maulvi Noor Mohammed Bin-Salih ow’e Tanzania Amir Tahir Mahmood Chaudhry ssaako ow’e Kenya Tariq Mahmood Zafar.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...