TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egobye egimu ku misango egyaggulwa ku bali ku gwa Kaweesi

Kkooti egobye egimu ku misango egyaggulwa ku bali ku gwa Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu kutta omugenzi Andrew Felix Kaweesi.

Agende 703x422

Abamu ku bantu abaasigala mu kkooti e Nakawa ku musango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.

Abantu bano mu kiseera kino bali mu kkomera ku bigambibwa nti beenyigira mu kutemula Kaweesi kyokka mu kiseera kye kimu, baggulwako omusango gw’okubeera abayeekera b’ekibiina kya ADF.

Bano kuliko Abubaker Ntende, Osman Mohammed, Ibrahim Kissa, Abdul Majid Ojegere, Hassan Tumusiime, Saudah Ayub, Asuman Mugoya, Hamidu Magambo, Swalley Damulira, Ahmada Shaban Senfuka, Umar  Maganda, Sinaani Hibwagi, Ali  Mugoya ne Abdurah Kalla.

Omulamuzi Ponsiano Odwori yagobye omusango guno oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obulumiriza abawawaabirwa okumala emyaka ebiri n’omusobyo.

Munnamateeka w’abawawaabirwa bano, Geofrey Turyamusiima yateekayo okusaba kwe gye buvuddeko ng’asaba kkooti egobe omusango guno era bw’atyo omulamuzi n’asalawo okugugoba.

Turyamusiima yategeeza kkooti nti ebikolwa by’oludda oluwaabi byali bityoboola  eddembe ly’abawawaabirwa  ery’okuwuliriza omusango mu bwangu era balinga ababatulugunya .

Kyokka kkooti bwe yazzeemu okutuula ne basoma ffayiro y’omusango guno, oludda oluwaabi terwabadde lwetegefu kugenda mu maaso na musango  guno bw’atyo omulamuzi Odwori n’asalawo okugugoba.

Ku musango gw’okutta Kaweesi, kkooti eno yabadde erina okuwa ensala yaagwo, okugugoba oba okugusindika mu kkooti ya Ssemateeka nga balooya b’abantu bano bwe basaba tekyasobose kubanga  ffayiro yaagwo ekyalemedde mu kkooti enkulu e Kololo ewozesa emisango egiri  ku mutendera gw’ensi yonna gye baayimbulira abantu abalala abali ku musango guno era ne gwongezebwayo okutuusa nga March 24, 2020.

Oluvannyuma lw’omusango guno okugobwa Turyamusiima yategeezezza nti ku misango gino gyonna gye baggula ku bantu bano tewali gavumenti gw’erinako bujulizi wabula yabakwata lwa bigendererwa byayo ebitamanyiddwa era abantu bano baayita mu kutulugunyizibwa okw’enjawulo  mu bifo gye baali babasibidde.

Gavumenti okulemwa okuleeta obujulizi ku misango gino, Turyamusiima yakitadde ku bunafu bwa  ofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti kubanga bw’eba eyita ffayiro y’omusango gwonna okuva ku poliisi temala kusoma mu bujulizi bubeera bugiweereddwa okumanya oba bulimu eggumba kye bava basaba buli kiseera okwongezaayo emisango kuba tebabeera na bujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.