TOP

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu ssente'

By Muwanga Kakooza

Added 26th January 2020

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira mu masomero ga gavumenti agali mu nkola ya ‘’bonna basome’’ ne balemesa abayizi abanaku okusoma.

Index 703x422

Kino yakyogeddeko ng’ekiremesa enkola y’okusomesa abaana b’abanaku n’agamba nti abantu naddala abakulembeze mu bitundu  basaanye okumwegattako okukirwanyisa.

Museveni era yategeezezza nti gavumenti egenda kwebuuza ku bantu ku ngeri gy’eyinza okwongera okutereezaamu  enkola ya bonna basome.

Pulezidenti eyabadde ayogera mu Lungereza n’Orunyankole bakira olumu mwatabika  Oluswayiri olutonotono bino yabyogeredde Ibanda  mu bugwanjuba bwa Uganda ku mukolo gw’okukuza emyaka 34 bukyanga gavumenti ya NRM ejja mu buyinza.Gwetabiddwako eyali Pulezidenti wa Tanzania Jakaya Kikwete era abantu 95 baawereddwa emidaali ebintu ebitai bimu bye bakoledde eggwanga.

Museveni okutuuka ku bino kyadiridde abantu okumuloopera nti  waliwo abakulu b’amasomero ab’emitwe eminene abasaawo ebisale eby’ekimpatiira ne bagoba abayizi ba bonna basome ababa balemereddwa okuzisasula. Abamu ku bakulembeze baamugambye nti obukiiko obugatta abazadde n’abasomesa mu masomero obumu butuuka nga tebwebuuzizza ne busaawo ssente ez’ekimpatiira olwo abayizi abalemwa olumu ne babagoba mu masomero.

Pulezidenti yazzeemu okukunga abantu okuva mu by’okulima emmere  n’okulunda ebisolo eby’okulya kwokka n’agamba beenyigire ne mu by’okulina ey’okutunda bakole ku byetaago byabwe. Yabakuutidde okukuuma omutindo gw’ebintu bye balima bisobole okugenda mu butale naddala obw’ebweru.

‘’E Misiri bangamba baagala kasooli kyokka ekibatta wano kasooli obulungi bwe bukoma mu nnimiro. Olumala okumukungula ate ne mumwanika mu ttaka n’afuna obuwuka’’ bwe yagambye.

N’akunga n’abantu okujjumbira okugula ebirimibwa n’okulundibwa wano kyongere okugaziya ku butale. Yawadde eky’okulabirako nti Uganda efulumya mata agaweza liit obukadde 2,500 omwaka kyokka Bannayuganda banywaako obukadde 800 bwokka olw’okuba abamu tebalina ssente zigagula.Yannyonnyodde nti Munnayuganda abalirirwa nti anyway liita z’amata 60 omwaka  kyokka ng’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu (WHO) kiwa amagezi omuntu anywe liita 180 omwaka asobole okuba n’amagumba n’amannyo amagumu.

Yagambye nti ebintu ebirala bingi omuli amatooke,kasooli,ssukkaali birimibwa mu bungi kyokka ekizibu kya kufuna butale naddala ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.