TOP

Uganda enywezezza enkolagana yaayo ne Napel

By Joseph Mutebi

Added 19th March 2020

“Napel lye ggwanga omuli ebibira n’ensozi ez’omulembe abantu gye basaanye okulambula omuli n’olusozi Everest olusinga obuwanvu mu nsi yonna. Njagala kweyambisa omukisa guno ogumpeereddwa nga tuli wamu ne minisitule y’ebyobulambuzi tuyige obukodyo bwe bakozesa okufuna ssente mu byobulambuzi naffe mu Uganda tufunemu,” Sudhir bwe yategeezezza.

Sudhirbyjmutebi2 703x422

Omugagga Sudhir ne abambasada Jhabindra Aryal nga baggulawo ofiisi ye. Ebifaananyi byonna bya JOSEPH MUTEBI

GAVUMENTI ya Uganda enywezezza enkolagana yaayo ne Napel, minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kutesa n’awa Bannayuganda amagezi okukozesa omukisa guno okutumbula ebyobulambuzi, obulunzi n’obulimi gattako ebyobusuubuzi.

“Amawanga mangi gaagala okubeera n’ababaka abagakiikirira mu mawanga amalala naye nga tebalina busobozi.

Bwe ndaba ng’eggwanga lya Napel, lironze Sudhir Ruparelia alikiikirire mu Uganda ng’omubaka waalyo lirengedde wala kubanga ye muntu omutuufu alina obusobozi okutumbula ebyobusuubuzi n’obulambuzi mu mawanga gombi,” bwatyo Kutesa bwe yagambye.

Bino Kuteesa yabyogeredde ku mukolo nnaggagga Dr. Sudhir Ruparelia bwe yabadde atongozebwa okufuulibwa omubaka (consul) wa Napel mu Uganda.

Sudhir yasoose kweyanjula ku minisitule y’ensonga z’ebweru mu butongole ng’ali ne amabasada wa Napel, Jhabindra Aryal.

Oluvannyuma bagguddewo ofiisi mw’anaakoleranga emirimu gino ku kizimbe kya Crane Chambers mu Kampala.

Oluvannyuma Sudhir yagabudde mikwano gye akabaga ku Kabira Country Club e Bukoto ku Lwokubiri ekiro.

Sudhir yagambye nti amanyi bulungi ebiyinza okugasa Bannayuganda noolwekyo nga bw’afuuse omubaka wa Napel mu Uganda, kigenda kwongera okumwanguyiza okutumbula ebyobusuubuzi n’obulambuzi mu Uganda ne Napel kuba enkolagana y’amawanga gombi yeeyongedde.

“Napel lye ggwanga omuli ebibira n’ensozi ez’omulembe abantu gye basaanye okulambula omuli n’olusozi Everest olusinga obuwanvu mu nsi yonna. Njagala kweyambisa omukisa guno ogumpeereddwa nga tuli wamu ne minisitule y’ebyobulambuzi tuyige obukodyo bwe bakozesa okufuna ssente mu byobulambuzi naffe mu Uganda tufunemu,” Sudhir bwe yategeezezza.

Yasabye Bannayuganda okukozesa omukisa guno batuukeko e Napel balabe bye bayinza okusuubulagana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza