TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Munnamawulire eyasimattuka okuttibwa mu sityudiyo afudde puleesa

Munnamawulire eyasimattuka okuttibwa mu sityudiyo afudde puleesa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Munnamawulire James Kunobwa eyasimattuka okuttibwa mu sityudiyo mu 1970 afudde puleesa, disitulikiti y'e Mukono yaakumukungubagira

Namataba111webuse 703x422

Munnamawulire James Kunobwa bw'abadde afaanana

Bya Madinah Sebyala
Olukiiko olufuzi olukulembera Disitulikiti y'e Mukono lusazeewo olunaku Olwokuna okusiima emirimu gy’eyali Sipiika wa Disitulikiti eno omugenzi James Kunobwa. Kunobwa yamala ebisanja bibiri okuva mu 2006 okutuuka 2016 ng’akiikirira ggombolola y'e Nagojje ku lukiiko lwa Disitulikiti y'e Mukono era n’aweebwa n'obukubiriza bwa Disitulikiti bwe yamalako ebisanja bibiri. 
Omukubiriza w'olukiiko lwa Disitulikiti, Emmanuel Mbonye, yategeezezza Bukedde ku ssimu nti, amawulire g'okufa kwa James Kunobwa gabakubye wala era puleesa ye yamukuba n’asannyalala okumala wiiki ssatu era yafudde ku Ssande akawungeezi..
Mponye yayongeddeko nti, basaaliddwa Kunobwa naddala mu kiseera kino Disitulikiti w'ebadde yeetagira abawi b'amagezi nga Kunobwa kubanga abadde takodowalira birowoozo ate nga musajja mugezi. 
 ipiika wa isitulikiti ye ukono mmanuel bonye  ngasiima omugenzi ames unobwa eyaliko ipiika wa isitulikiti Sipiika wa Disitulikiti y'e Mukono, Emmanuel Mbonye ng'asiima omugenzi James Kunobwa eyaliko Sipiika wa Disitulikiti

 

Ajja kujjukirwa okusakira abalonzi be bwe yakulemberamu okuperereza Gavumenti okuzimba ettendekero lya Namataba Techinical Institute kati eryafuuka Limkwong University, era nga likyusizza embeera y'ekitundu.
James Kunobwa yaliko omusomi w’amawulire ku Radio Uganda ne UTV mu myaka gya 1970. Era lumu bwe yali ayogerako ne Bukedde yategeeza nti, y'omu ku bakaawonawo abaasimattuka okuttibwa eyaliko Pulezidenti Amin bwe baamulumba mu sityudiyo okumutta nga bamulanga okusoma amawulire g'okufa kw’eyali Ssaabalabirizi wa Uganda, Janan Luwum era bwatyo yeekweka mu emu ku mmeeza  n'asimattuka kyokka ttivvi ne leediyo ne biggyibwako. 
Kunobwa abadde musajja muyonjo nga tagwa ssuuti na ttaayi buli kaseera era afudde ateekateeka kwesimbawo okuvuganya ku bwammeeya bwa Namataba Town Council.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza