TOP

Abalwadde ba siriimu e Masaka basattira

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

Abantu abalina obulwadde bwa siriimu nga bajjanjabirwa mu ddwaaliro ekkulu ery’e Masaka basattira olw’ekyuma ekikebera obutoffaali okusinziirwa omulwadde okutandika okufuna eddagala, okufa.

2011 10largeimg202 oct 2011 235124383 703x422

Abantu abalina obulwadde bwa siriimu nga bajjanjabirwa mu ddwaaliro ekkulu ery’e Masaka basattira olw’ekyuma ekikebera obutoffaali okusinziirwa omulwadde okutandika okufuna eddagala, okufa.

Akulira ekifo awakebererwa omusaayi mu ddwaaliro ekkulu ery’e Masaka, Michael Lukubye yategeezezza ng’amagezi bwe gakyabeesibye kubanga ne mu kitongole kya Uganda Cares gye batutte omusaayi okukeberebwa obutoffaali  ate n’ekyayo kifu.

Bino byonna byabadde bitegeezebwa mubaka Freda Nanziri Kase Mubanda (Mukazi-Masaka) eyabadde alambula eddwaaliro lino okuzuula engeri abasawo gye baddukanyaamu emirimu n’abalwadde gye basangamu obujjanjabi obubatwala mu ddwaaliro lino. Wano Mubanda (ku ddyo) nga bamulambuza eddwaaliro.

Kati sabbiiti ziweze ssatu nga tukolera mu mbeera efaanana etyo era tetumanyi kya kukola kubanga omusaayi ogusinga bwe tuguggya kubantu ate mukifo ky’okukeberebwa tuyiwa muyiwe olw’ensonga nti tewali wetuyinza kugukeberera,’ bwe yagambye.

Lukubye agamba nti wadde ng’eddwaliro lino ery’e Masaka ligezezzaako okusaba abakulu mu minisitule okuwereza ebyetaagisa okukebera n’okutuusa obujjanjabi obwetaagisa eri abantu, kawefube ono akyagudde butaka.
 

Abalwadde ba siriimu e Masaka basattira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.