TOP

Abafiiridde mu kabenje babasabidde

By Musasi Wa

Added 4th October 2011

ABAFAMIRE eyafiiridde mu kabenje mu Mabira babasabidde mu kkanisa ya All Saints e Nakasero mu kwazirana.

2011 10largeimg204 oct 2011 001548210 703x422

ABAFAMIRE  eyafiiridde mu kabenje mu Mabira babasabidde mu kkanisa ya All Saints e Nakasero mu kwazirana.

Ssanduuko z’abagenzi nnya zisimbiddwa mu maaso g’ekkanisa aboluganda n’emikwano ne baziganzikako ebimuli mu kusaba okwakulembeddwa Viica wa All Saints, Rev. Diana Kensiza.

Emyoyo gy’abaasabiddwa kuliko:Daniel Mirembe omukozi wa Standard Chartered Bank, Lilian Kirabo owa Bright Lilies Nursery And Day Care Centre e Mutungo n’abaana baabwe Nicol Asimwe ne Jonathan  Mirembe ab’e Bweyogerere Bbuto abafiiridde mu kabenje akaatuze abantu 9 ate 7 ne basimattuka n’ebisago ku luguudo lw’e Jinja ku Lwomukaaga.

Abemikwano n’eng’anda baalombozze ebikwata ku bagenzi okuli ne Annet Mbabazi eyategeezezza nti mu kwanjula yali metulooni wa Kirabo wabula wiiki ewedde baakubaganyizza ebirowoozo ku kufa oluvannyuma n’amusaba okumuteekera omukono ku satifikeeti ye ey’obufumbo n’amusuubiza nti banaakikola obudde bwonna wabula afudde tebakikoze.

Standard Chartered Banka yawaddeyo obukadde 15 okukola ku nteekateeka z’okuziika era abagenzi bakuziikibwa e Buyanza  Rukungiri olwaleero.

 

Abafiiridde mu kabenje babasabidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo