TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balagiddwa okuziika omwala oguyita ku katale ka Owino

Balagiddwa okuziika omwala oguyita ku katale ka Owino

By Musasi Wa

Added 4th October 2011

AKULIRA okuteekerateekera ekibuga Kampala, George Agaba alagidde aba kkampuni ya Stiring Uganda Ltd, okuziika omwala gwe babadde basima nga bakola oluguudo lwa Kafumbe Mukasa oguyita ku katale k’Owino baguzze mu kifo ekituufu we gwalina okuyita.

2011 10largeimg204 oct 2011 125953633 703x422

AKULIRA okuteekerateekera ekibuga Kampala, George Agaba alagidde aba kkampuni ya Stiring Uganda Ltd, okuziika omwala gwe babadde basima nga bakola oluguudo lwa Kafumbe Mukasa oguyita ku katale k’Owino baguzze mu kifo ekituufu we gwalina okuyita.

Kyaddiridde abasuubuzi b’akatale ka Owino (St. Balikuddembe) okwekalakaasa gye buvuddeko ne balemesa aba Stiring okuzimba omwala gwe baali basimye oguyita ku bizimbe by’akatale k’Owino.
 
Omwogezi w’akatale kano, Wilberforce Mubiru yategeezezza nti tebayinza kukkiriza mwala kuyita ku katale kaabwe ke bagenda okuzimba ng’ate pulaani yaagwo yalina kuyita waggulu w’oluguudo.
 
Bino byatuukiddwaako wiiki ewedde ba yinginiya okuva mu KCCA abaakulembeddwaamu Agaba bwe bazze okulaba ebikolebwa ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.
 
Agaba yalagidde bamenyewo ekizimbe kino ekiri mu kkubo we baba basiima omwala era baguzimbe nga gubikiddwaako ku ngulu kuba bwe guziba kyangu okuguzibukula.
 

Balagiddwa okuziika omwala oguyita ku katale ka Owino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi