SSENTEBE wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika (ku ddyo) alagidde abakozi ba gavumenti okuva mu bizinensi y’okwegabanya emidaala mu butale babulekere abasuubuzi ababukoleramu.
Kino kyaddiridde Bwanika, olukiiko lwe olukulembeze n’akulira abakozi mu disitulikiti, David Naluwairo okusisinkana abasuubuzi mu katale k’e Kajjansi ne bamuloopera ng’abakozi ku disitulikiti bwe beegabanya emidaala mu katale ako akaazimbibwa mu biseera bya CHOGM ne balemesa basuubuzi bannaabwe abaali bakoleramu okufuna emidaala we bakolera.
Abasuubuzi abaakulembeddwamu Charles Ssemakula era baalumirizza n’abaali abakulembeze ba disitulikiti okwegabanya emidaala n’obuyumba mu butale nga kati obumu bwasibwako ne kkufulu.
Naluwairo yategeezezza nti bagenda kunoonyereza ku bannannyini gyo babeeko kye bakolawo.
Baloopye abanene abeekomezza emidaala mu katale k’e Kajjansi