TOP

Abasawo b’ekinnansi e Kiboga balabuddwa

By Musasi Wa

Added 5th October 2011

ABASAWO b’ekinnansi n’abasamize mu Disitulikirti y’e Kiboga balabuddwa bakomye okukolagana n’abazigu abatwala emmundu mu masabo gaabwe nga bamaze okukola ebikolwa by’obutemu ‘Bajjajja’ bazinaazeeko, okukaka abalwadde baabwe akaboozi k’ekikulu ekituusiza n’abamu okuzaala mu bakabandi ne babatabulira

2011 10largeimg205 oct 2011 005156957 703x422

ABASAWO b’ekinnansi n’abasamize mu Disitulikirti y’e Kiboga balabuddwa bakomye okukolagana n’abazigu abatwala emmundu mu masabo gaabwe nga bamaze okukola ebikolwa by’obutemu ‘Bajjajja’ bazinaazeeko, okukaka abalwadde baabwe akaboozi k’ekikulu ekituusiza n’abamu okuzaala mu bakabandi ne babatabulira amaka.

Omumbejja Naluwembe owa kkampuni ya “Bwanga Bwamirembe” evunaanyizibwa ku basawo b’ekinnansi, abasamize n’abatabuzi b’eddagala mu  Bwakabaka bwa Buganda ye yabagambye bino bwe yabadde abasisinkanye e Kyankwanzi wiiki ewedde. 

Bwanga yategeezezza nti bagenda kulongoosa omulimu gw’obusawo nga bawandiika abasawo n’abasamize baweebwa satifikeeti y’eggwanga lyonna n’okusigaza ebibakwatako mu lijesita biweebweko ofiisi z’ababaka ba gavumenti (RDC’s) ne poliisi z’ebitundu kibayambe okulondoola buli omu ne by’akola.

Ssentebe w’abasawo e Kiboga, Sulaiman Kayiwa yamuloopedde abantu aboonoona omulimu gwabwe.

Abasawo b’ekinnansi e Kiboga balabuddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda