TOP

Desire Luzinda akwatiddwa lwa bbanja

By Musasi Wa

Added 31st October 2014

OMUYIMBI Desire Luzinda asimatusse okusindikibwa mu kkomera e Luzira bwasasudde obukadde 10 ng’ekitundu kya ssente zeyewoola ku musuubuzi w’omu Kampala .

Bya Eria Luyimbazi ne Alice Namutebi

OMUYIMBI Desire Luzinda asimatusse okusindikibwa mu kkomera e Luzira bwasasudde obukadde 10 ng’ekitundu kya ssente zeyewoola ku musuubuzi w’omu Kampala .

Kino kidiridde ba wannyondo ba kkooti aba T/A Mutesasira Associates nga bakolera ku biragiro by’omusuubuzi Peter .G .Mugwanya okumukwata ng’amubanja ssente obukadde 15 zeyamwewolako wabula nalemererwa okuzimusasula mu bbanga lye baategeragana.

Luzinda abadde yakasa ekikoowe kya Munnamagye Maj. Juma Seiko okumutabukira ng’amubanja omwana yakiguddeko bawanyondo bwe bagenze ku "flat" soma fulaati e Makerere gyasula ku Lwokuna ne bamukwata ne bamutwala buterevu mu kkooti olwokulememera okusasula ebbanja lya ssente
16,839,500/-

Moses Mutesasira nga ye wanyondo eyakutte Luzinda yagambye nti Mugwanya yagenze mu kkooti nga October 23 nafuna ekiragiro ekimukkiriza okukwata Luzinda nga kyafulumiziddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti Muhamadi Kasakya.

“Twafunye olukusa okuva ewa Mugwanya ng’atugamba okunoonya Desire Luzinda olw’okulemererwa okusasula ssente ze yamuwola bwe yali ategeka ekivulu ku Serena Hotel mu mwezi gwa June era bwe yatukwasizza ebbaluwa ne tutandika okumunoonya okutuusa lwe twamukutte” Mutesasira bwe
yagambye.

Luzinda ng'agezaako okwewala kkamera za Bukedde

Yagambye nti Luzinda yasooka naawa Mugwanya ceeke yabukadde 15 wabula n’ebuuka nga wano weyasinzira okugenda mu kkooti nafuna ekiragiro ekimukwata.

Muteesasira yategezezza nti okunoonya Luzinda tekibadde kyangu kuba ebifo bye bababdde bamanyi ng’e Kisaasi ne Ntinda abadde yasengukayo okutuusa lwe bafunye amawulire nti asula mu Fulaati ze Makerere eziri emabega w’ekizimbe kya Hamu Towers Luzinda olwatuusiddwa ku kkooti ku saawa 6:00 ez’omuttuntu natandika okukubira abamu ku mikwano gye okugendayo bamutaase n’okumufunira ku
ssente asobole okusasulako ku bbanja wabula ne balwawo okutuuka ekyamuletedde okwelalikirira nti agenda kusindikibwa Luzira.

Maneja we Paddy Masembe yasobodde okumumweyimirira bwe yasasuddeko obukadde 10 nasigala nga abanjibwa obukadde 10 ze bakkanyiza okumalayo nga November 23 kyokka Mutesasira namulabula okumukwata singa alemererwa okuzisasula nga bwe yakkanyiza.

Wabula Luzinda yabadde akyaali ku kkooti ne bakamutema nga bwe waliwo
ba wannyondo abalala bamulindidde wa bweru wa kkooti okumukwata nga wano weyasabidde bamuyisse mu geeti omuyita abalamuzi nasobola okubadduka.

Luzinda yeegasse ku muyimbi munne Abdu “Mulaasi” Ssemogerere eyakwatibwa wiiki ewedde n’okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde 4 eryamusuza e Luzira.

Abayimbi n'amabanja gaabwe

Abdul Mulaasi amabanja gamusuzizza e Luzira

Abdul Mulaasi ayimbuddwa e Luzira

Desire Luzinda akwatiddwa lwa bbanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....