TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddy Kenzo alumbye Bebe Cool kuby'okumuyita omuzinyi atamanyi kuyimba

Eddy Kenzo alumbye Bebe Cool kuby'okumuyita omuzinyi atamanyi kuyimba

By Musasi Wa

Added 6th August 2015

AKUMA omuliro mu lutalo lwa Eddy Kenzo ne Bebe Cool bw’aba asasulwa, kati mugagga! Ekirungi, olutalo lukyali lwa ‘sala wano’ (ntegeeza nti lwa bigambo).

2015 8largeimg206 aug 2015 105912320 703x422

Bya MARTIN NDIJJO


AKUMA omuliro mu lutalo lwa Eddy Kenzo ne Bebe Cool bw’aba asasulwa, kati mugagga! Ekirungi, olutalo lukyali lwa ‘sala wano’ (ntegeeza nti lwa bigambo).

Kenzo yasinzidde mu baamawulire ku Hotel Africana n’ava ku mulamwa gw’okwogera ku nteekateeka z’ekivvulu kye, n’ajerega Bebe Cool bulijjo amuyita omuyimbi omuto.

“Bebe Cool akkirize nti buli kiseera n’ebyakyo. Bebe amaze ebbanga ng’anvuma ku leediyo nti ndi muzinyi siri muyimbi naye akkirize nti emyaka gimugenzeeko. Yasemba okwewandiikira oluyimba emyaka musanvu kyokka nze nneewandiikira ate buli lwe ndeeta ebeera ‘hit’ (lukwatayo),” Kenzo bwe yagambye n’agattako nti, “Ssinga ndi muzinyi, eno engule ya BET twandigifunye?” Olwayogedde ku ngule n’amagamaga, abantu ne balowooza nti gy’anoonya agibalage. Naye teyayise nayo.

“Nze sigamba nti Bebe Cool tamanyi kuyimba, wabula ave ku ky’okulwanyisa omugigi omupya, aguwagire kubanga kati ffe tuliwo,” Kenzo bwe yagambye eggulo ng’ayanjula enteekateeka z’ekivvulu kye ekya ‘Mbiro mbiro’ ekya nga August 14, 2015 ku Hotel Africana.

Kenzo bwe yabuuziddwa ku ky’abaana ba Ghetto Kids abazinira mu vidiyo ya ‘Sitya Loss’, yagambye nti maneja waabwe, Dauda Kavuma ‘Ttica’, y’abakotoggera “Era okujja n’ewange ebiseera ebisinga bebbirira bwebbirizi. Buli kye mulaba mu vidiyo eyo kwali kuyiiya kwange” nti abaana yabateekamu kuggyayo mbeera mbi ey’oku luguudo gye yayitamu mu myaka gye egy’ekito.

 

‘Bebe Cool akkirize akaddiye’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.

Galabuzi 220x290

Ndi mwetegefu okuwa obujulizi ku...

AMERIKA olwatadde nnatti ku Gen. Kale Kayihura, ne wavaayo abantu abamulumiriza okubatulugunya nga basaba atwalibwe...

Kolima1 220x290

Ekkoligo lya Amerika ku Kayihura...

EKKOLIGO Amerika lye yatadde ku Gen. Kale Kayihura littukizza ensonga z’okutemulwa kwa Kaweesi ne Kagezi, ng’abaakwatibwa...

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente