TOP

Omujaasi bamukutte ne ssente z’enguzi

By Musasi Wa

Added 6th August 2015

BAMBEGA ba Poliisi okuva mu kitongole kya PSU ekirondoola enneeyisa y’abaserikale, bakutte omuserikale Perez Ssebbowa ku poliisi y’e Wakaliga okumpi n’e Nateete nga bamuvunaana kukola kikwekweto n’atandika okusolooza ssente ku bantu mu bukyamu.

2015 8largeimg206 aug 2015 124516687 703x422

Bya PONSIANO NSIMBI


BAMBEGA ba Poliisi okuva mu kitongole kya PSU ekirondoola enneeyisa y’abaserikale, bakutte omuserikale Perez Ssebbowa ku poliisi y’e Wakaliga okumpi n’e Nateete nga bamuvunaana kukola kikwekweto n’atandika okusolooza ssente ku bantu mu bukyamu.

Ssebbowa okukwatibwa kyaddiridde ab’ehhanda z’abaakwatiddwa okukeera ku poliisi okuggyayo abantu baabwe kyokka bakira buli amutuukirira ng’amuggyako enguzi, ekyabawalirizza okumuloopa mu bakama be.

Swaib Saaka, omutuuze w’e Nateete mu Kajumbi zooni yategeezezza nti ye yakwatiddwa ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro bwe yabadde adda eka ne bamusaba ebimwogerako n’abiwaayo kyokka Ssebbowa n’amugamba nti oba ayagala okumusonyiwa alina okumuwa 100,000/-. Bw’ataazimuwadde n’amussa ku mpingu.

Abantu baabadde bangi ku poliisi e Wakaliga abazze okununula abantu baabwe era omu ku bo kye yavudde aleeta ekirowoozo bakubire ku bakulu babaloopere nga Ssebbowa bw’asaba ssente.

Baakubye essimu mu kitongole kya PSU ne kisindika boofiisa basatu. Bwe baatuuse, baagenze butereevu ku kaduukulu ne bayimbula abasibe bonna olwo ne badda mu kafubo n’atwala poliisi eno, Florence Oryem. Oluvannyuma baayise Ssebbowa ne bamubuuza we yabadde awandiise abasibe abali mu kaduukulu n’abo be yabadde ayimbudde nga takirina.

Baamubuuzizza ssente ze yabadde nazo mu nsawo n’tegeeza nti zaabadde emitwalo 18 kyokka bwe baamwazizza, ne bamusanga ne 300,000/-. Okumubuuza endala gye yabadde aziggye, ng’atunula butunuzi. Amangu ago baamuggalidde nga poliisi bw’etegeka fayiro ye ku musango gw’okuggya ensimbi ku bantu mu bukyamu.

 

Omujaasi bamukutte ne ssente z’enguzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.