TOP

Museveni ayogedde ebinaakolebwa 2016

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2016

Pulezidenti agambye nti omwaka 2016 gujja kubaamu ebyengera nga kye twetaaga kwewala njawukana,

Musevo 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogerera ku lukung'aana lwa NRM

Bya KIZITO MUSOKE  

Pulezidenti agambye nti omwaka 2016 gujja kubaamu ebyengera nga kye twetaaga kwewala njawukana, tusse ekitiibwa mu ndowooza ezenjawulo ne ffenna awamu okulangirira 2016 okuba omwaka gw’enkulaakulana nga kino tetukikomya mu bigambo wabula mu bikolwa. 

Mu bubaka obumalako 2015 n’okwagaliza Bannayuganda 2016 ogw’essanyu bwe yawadde ng’asinziira e Kisoro, Mw. Museveni ayogedde ebituukiddwaako mu 2015 ebigenda okuzimbirwako.

ENGUUDO

Nnyingi zigenda kukubwa kolaasi mu myaka etaano egijja. Zino kuliko Mpigi-Kanoni; Kanoni-Sembabule-Villa-Maria; Mukono-Kayunga-Njeru; Mukono-Kyetume-Katosi;  Mubende-Kakumiro-Kagadi-Ndaiga; Mbarara-Kikagata, Tirinyi-Pallisa-Kumi; Hoima-Kigoroobya-Biiso-Wanseko- Masindi Port. Ezitaakubwe koolasi zijja kukolebwa mu nkola yamulembe okuva disitulikiti bwe zifunye ebyuma ebimala. 

AMAFUTA

Bwe ganaatandika okusimibwa tujja kutandikira ku bipipa emitwalo mukaaga buli lunaku. Oluvannyuma tugaziwe okutuuka ku bipipa emitwalo 12. Buli kipipa tujja kukitunda doola 60 ekitegeeza nti amafuta gajja kutuwa doola obuwumbi busatu. Zino zijja kusitula ebyenjigiriza n’okwanguya ebintu ng’okubunyisa amasannyalaze n’amazzi, okukola enguudo n’ebirala.

Kyokka Pulezidenti we yayogeredde ng’ebbeeyi y’amafuta eyongedde okugwa mu nsi yonna. Ekipipa kati kiri ku ddoola 36.

Yagambye nti ng’oggyeeko amafuta ge tunaatunda ebweru n’okukozesa omuli ag’ennyonyi, petulooli, dizero n’agettaala, ebikamulo byago bijja kutuyamba okukola ebigimusa, abakola ebya pulasitiika n’ebirala.

EBYENJIGIRIZA

Wadde tebiri ku mutindo gwa waggulu, abantu baffe bangi tusobodde okubasomesa. Mu kiseera kino abaana baffe obukadde 11 bali mu ssomero okuva ku pulayimale okutuuka ku matendekero aga waggulu.

Kati tugenda kuzimba ettendekero ly’ebyemikono mu buli konsitityuwense gattako amatendekero amanene agali ku musingi gw’eggwanga.


EBYOBULIMI

Buli kitundu mwe mpita mpulira essanyu olw’ebikolebwa. Mbeera mu nnyonyi ne ndaba ng’abantu bafuddeyo okwegobako obwavu nga bayita mu kulima okwesigamiziddwa ku kibalo. Mbawa amagezi muleme kusalaasala mu ttaka lyammwe kubanga kino kikalubya okugaziya ennimiro.

Kati tumaze okugonjoola ekizibu ky’ensigo- emmwaanyi, kasooli ow’mbala, ebijanjaalo byonna tubirina. Essira tugenda kulissa ku kuyigiriza bantu n’okubayambako okufukirira.Ekirala tulina okulwanyisa abasenga oba okulima mu ntobazzi kubanga entobazzi mwe tunaggya amazzi g’okufukirira.

Mu ngeri y’emu twettanire okukozesa ebigimusa kubanga amawanga amalala nga Amerika gonna kati geesigamye ku bigimusa.

EBYOKWERINDA

Bikulu nnyo mu buli kintu. N’olwekyo okuva mu 1986 tubitaddeko nnyo essira era tujja kweyongera.

OKUSASULA ABAAZIRWANAKO

Nkimanyi nti babanja. Kyokka nange ndi mulwanyi. Baali babanja obuwumbi 1,000 n’okusoba. Tuzze tusasula kati babanja obuwumbi 500. Buli mwaka tujja kubawa obuwumbi 70, okutuusa lwe ziriggwayo.

OKULONDA 2016

Pulezidenti y’aba addirira Katonda ku nsi. N’olwekyo omuntu omulimba nga Kiiza Besigye tasaana kubeera wadde okusemberera entebe y’Obwapulezidenti. Besigye alaba amalwaliro ge tutannakola n’agakyalira n’alaga bwe gali obubi, kyokka ge tukozeeko tagoogerako. Oyo mukulembeze ki?

Mbaagaliza omwaka 2016 ogw’essanyu n’enkulaakulana.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.