TOP

Abooluganda lwa Aine bazinzeeko Mulago

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2016

Poliisi yeekebezze eggwanika ly'e Mulago okunoonya omulambo gwa Aine

Ai2 703x422

Christopher Aine agambibwa okubula nga mu kiseera kino anoonyezebwa Poliisi

 POLIISI egenze e Mulago mu ggwanika n’ekebera emirambo gyonna oluvannyuma lw’abooluganda lwa kanyama wa Amama Mbabazi ayitibwa Christopher Aine Kato okulumiriza nti baalabye omulambo gw’omuntu waabwe mu mawulire nga bakakasa nti ye waabwe eyabula.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ye yakulembeddemu abooluganda bano okugenda ku ggwanika e Mulago okukebera emirambo era baggyeeyo gumu ku gumu ne batazuula muntu ono.

Enanga oluvannyuma yategeezezza abooluganda nti mu kiseera kino tebamanyi Aine gy’ali kuba ne poliisi emunoonya.
Abooluganda lwa Aine abaagenze ku ggwanika kwabaddeko Micheal Mubiru, Moses Musasizi, ne Rita Aine Babirye.

Akulira eby’obujjanjabi mu poliisi, Dr. Moses Byaruhanga yannyonnyodde nti buli muntu aleetebwa mu ggwanika nga taliiko bantu be bamuggyako obufi ne babutereka abantu be bwe baba bazuuse, bubayamba okukakasa nti ye muntu waabwe.

Yategeezezza nti okusinziira ku likodi z’eggwanika tebalinaamu mulambo gwa Aine. Enanga yagambye nti bagenda mu maaso n’okunoonya Aine okutuusa lwe banaamuzuula.
Aine yabula nga December 14, 2015 okuva mu maka ge e Kyanja. Kizibwe wa Aine, Ezra Kabugo agamba nti okuva olwo tebaddangamu kumulaba.

Aine ono yasooka kuzza musango gwa kukuba baserikale ba poliisi ku kkooti e Jinja ne bamukwata ne bamuggalira ne bamuggulako omusango gw’okulumya abaserikale ba poliisi kyokka ne yeeyimirirwa era abadde awoza ava bweru.

Wabula Bannamateeka ba Mbabazi abakulirwa Severino Turinobusingye baagenze mu kkooti ne bateekayo okusaba kwabwe nga baagala ewalirize poliisi ereete Aine mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...