TOP

Abaana bajjiiridde mu nju nga nnyaabwe azaalisa ebisolo bye

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2016

ABAANA basatu bajjiiridde mu muliro oguteeberezebwa okuba nga gwavudde ku musubbaawa ogwakutte omufaliso.

Abaana1 703x422

Nnaalongo Zalwango. Wakati be baana; Betesta Kaggwa ne Wycliff Kizza abaafudde. Ate ku ddyo ye kitaabwe Ssaalongo Ssennyondo

Bya HANIFA NAMUWONGE

ABAANA basatu bajjiiridde mu muliro oguteeberezebwa okuba nga gwavudde ku musubbaawa ogwakutte omufaliso.

Entiisa eno yabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano ku kyalo Kisonko mu kabuga k’e Ssembabule nnyina w’abaana bano nnaalongo Gertrude Zalwango bwe yabalese mu nnyumba n’agenda okuzaalisa embizzi ze.

Abaafudde kuliko Wycliff Kizza 9, abadde asoma mu kibiina ekyokutaano ku St. Agnes e Miteete, Betesta Kaggwa 3 ne Betty Nandawula abadde yajja okuwummula wabula ye William Ssennyondo 6, yataasiddwa abadduukirize n’atwalibwa mu ddwaaliro e Kitovu gyajjanjabirwa.

Nnaalongo Zalwango yategeezezza nti ku ssaawa 3:00 ez’ekiro abaana yabalese mu nnyumba nga beebase n’agenda okuyambako embizzi ze ebbiri ezaabadde zizaala. Waayiseewo akaseera katono n’awulira emiranga era yagenze okutuuka awaka ng’ennyumba ekutte omuliro kyokka ng’ekisenge ky’abaana kiweddewo.

Joseph Ssennyondo, kitaawe w’abaana bano yagambye nti tannakakasa ngeri baana be gye bajjiiridde mu nnyumba.

Yagambye nti yasoose kubakeberako nga bonna bali bulungi n’alyoka agenda mu maka ge agookubiri era yeewuunyizza bwe baamukubidde essimu nti abaana bafudde n’asaba poliisi ekole okunoonyereza ku ngeri abaana be gye baafuddemu.

Ronald Were, akola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Ssembabule yagambye nti wadde bagamba nti omuliro gwavudde ku musubbaawa, balinze abazadde badde mu mbeera balyoke baddemu okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya