TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • ‘Maama kijja kuggwa’, bye bigambo mutabani eyafiiridde ku bbiici bye yansiibuzza

‘Maama kijja kuggwa’, bye bigambo mutabani eyafiiridde ku bbiici bye yansiibuzza

By Ali Kizza

Added 10th January 2016

“Omwana wange abadde agenda kutikkirwa dipulooma ye esooka mu byobulimi n’obulunzi mu March w’omwaka guno. Emisomo yagimalirizza bulungi era yakomawo awaka okuva ku kolegi e Bukalasa nga December 19, 2015 mpozzi olumbe lumuyita.

Manya1 703x422

Ssennyonga mukulu w’omugenzi.

OMWANA wange andekedde mpapula za kumaliriza misomo gye, kwe ntunula buli kiseera amaziga ne gannyunguka. Buli lwe nzijukira ebigambo bye yasemba okuhhamba ng’agenda ku bbiici gye yafiira nga December 26, 2015 nga nkaaba.

Mutabani wange Ali Ssendege 18, y’omu ku bantu abaafiiridde ku bbiici e Ntebe mu ggandaalo lya Ssekukkulu eyaakaggwa era bwe yatuuka e Ntebe yankubira okuntegeeza nga bw’atuuse obulungi.

Kye saamanya nti bye byali ebigambo bye ebisembayo gyendi,” bwatyo Brenda Grace Najjemba ow’e Nateete bw’atandika okunyumya ku mutabani we Ssendege kati omugenzi.

“Omwana wange abadde agenda kutikkirwa dipulooma ye esooka mu byobulimi n’obulunzi mu March w’omwaka guno. Emisomo yagimalirizza bulungi era yakomawo awaka okuva ku kolegi e Bukalasa nga December 19, 2015 mpozzi olumbe lumuyita.

Twalya bulungi Ssekukkulu nga tunyumya wabula tuba twogera ku bizibu bye tulina awaka n’ahhamba nti, ‘ Maama kijja kuggwa kasita mmalirizza okusoma, kati hhenda kutandika kukola nga bwe nsoma era njagala obeere mu ssanyu kuba kati owewuse’.

Ku lunaku olwo tulina enkola bwe tumala okulya nga tukuhhaana ffenna nga famire nga tunyumirwa wamu nga tuli waka, tewali atambula.
E

nkeera ku lwa December 26 mutabani yang'amba asaba kugendako ne banne ku bbiici e Ntebe, namubuuza ssente ze yeetaaga n’ahhamba 15,000/- ne nzimuwa wamu ne mukulu we Shafik Sennyonga. Beegattibwako bannaabwe ne bagenda ku Aero beach.

Mutabani ansiibula

Bwe yali ansiibula ng’ava awaka era yaddamu n’ahhamba nti maama kijja kuggwa. Eno yalinga hhombo ye ng’agikozesa nnyo okutegeeza nti embeera ejja kutereera. Nabalagira kimu nti ssaawa 4:00 ez’ekiro njagala babe nga bakomyewo.

Baatuuka bulungi kuba yankubira essimu ng’antegeeza nti batambudde bulungi ne nziramu ne mmutegeeza nti tebasussa essaawa ze nabalagidde nga tebannadda. Twayogera ku ssimu nga simanyi nti bye bigambo bye, bye nsembye okuwulira ng’alinga ansiibula.

Zaawera ssaawa ze nabagambye nga tebannadda mukulu we kye yava ankubira n’antegeeza nti Ssendege tebamulaba. Namugamba tebageza ne balekayo munnaabwe bamunoonye bakomewo bonna. Saasooka kweraliikirira nga mmanyi nti tewali buzibu bwa maanyi.

Ku ssaawa 9:00 ez’ekiro baakomawo nga bakutte engoye za munnaabwe n’essimu ye awo we natandikira okweraliikirira nga simanyi kituuse ku mwana wange. Bannyumiza ebibadde ku bbiici ne ndowooza nti osanga bandiba nga baamuyodde ne bamuteeka ku poliisi z’eyo.
Twebaka enkeera ne hhamba banne bagende ku poliisi z’e Ntebe babuulirize munnaabwe gye baamusibidde.

aama wa sendege ajjemba ngalaga empapula za mutabani we badde alindiridde kutikkirwa e ukalasa Maama wa Ssendege, Najjemba ng’alaga empapula za mutabani we. Abadde alindiridde kutikkirwa e Bukalasa.

 

Eyali n’omugenzi annyonnyola

Shafik Ssennyonga mukulu w’omugenzi agamba: Bwe twali ku bbiici waaliwo akacankalano akaatuukawo ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi nga waliwo abayaaye abaali bakola effujjo.

Wakati mu ffujjo wajja abasajja abaali mu yunifoomu z’amagye ne batandika okukuba abantu emiggo. Baakuba abantu emiggo nga tebabuuza wabula nga bwe bakusanga bakuba bukubi ate ne bakuba ne ttiiyagaasi buli wamu ne mu mazzi.

Baalangirira ku kizindaalo nti, ‘Abali mu mazzi obusajja bujja, abasinga ne batandika okuwuga nga beeyongerayo nga n’abasajja bano abakuba emiggo bwe babalumba awo we twanoonyeza Ssendege nga tetumulaba.

Twamulinda we twategeregana okusisinkana okudda awaka essaawa ne ziwera 2:00 ez’ekiro nga tetumulabako. Twayongera okulinda nga talabikako ne tunoonya nga tetumulaba kwe kukubira maama n’atugamba tetulekayo munnaffe. Twanoonya okutuuka ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro, bwe yatubulira ddala kwe kukwata engoye ze n’essimu okuva we twali tweyambulidde ne tudda awaka.

Enkeera ku Ssande twasookera ku poliisi y’e Kajjansi nga tetumulabayo ne tweyongerayo e Ntebe gye twabuuza abaserikale ne batugamba nti tumunoonyeze mu kye baayita “saddaaka” ng’asonga ku mirambo egyali giva okunnyululwa mu mazzi.

Yatubula ne tukubira maama eyategeeza taata eyanneegattako ne tugenda e Mulago mu ggwanika gye twasanga omulambo gwa muto wange. Waaliyo emirambo miyitirivu nga firiigi emu erimu emirambo ng’ena oba esatu.”

Tumusanga mu ggwanika

Najjemba agamba; “Omulambo twaguggya mu ggwanika naye bwe twali tumunaaza yalina ekiwundu ky’essasi ku mukono gwa ddyo, ng’ensingo mmenyefu ng’alina n’enkwagulo mu maaso ng’ava n’omusaayi mu nnyindo ekyandeetera endowooza nti omwana wange teyeefiira yattibwa buttibwa.
Ssendege twamutwala ne tumuziika ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Buvuma ku luguudo lw’e Bombo ku Mmande nga December 27, 2015.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...