TOP

Museveni nnamuwa amagezi okuwummula ebyobufuzi mu 2016 n'agaana - Mbabazi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2016

‘’Namugamba nti agenda kuba pulezidenti okumala emyaka 30 awummule . Era bwe namugamba awummule n’agaana ng’ayagala nnyongere okumuwagira alemereko kwe kwawukana naye,’’ Mbabazi bwe yagambye.

Mbabazi 703x422

Mbabazi

AVUGANYA ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi agambye nti alumirizza pulezidenti Museveni nti yagaana okumuwuliriza bwe yamuwa amagezi awummule mu 2016 okusobozesa eggwanga okukyusa obukulembeze mu mirembe .

 

Mbabazi eyeesimbyewo ku lulwe yabadde atabaala ebitundu by’e Teso omuli Ngora, Kumi  ne  Bukedea  n’agamba nti omukisa gw’eggwanga okukyusa obukulembeze mu mirembe bukyanga tufuna bwetwaze  mu 1962 gwafa busa.

 

Yagambye nti bakoze ne Pulezidenti emyaka 40 kyokka enkolagana eno baasalawo okugikomya olwa Pulezidenti Museveni okugaana okuwummula.

 

‘’Namugamba nti agenda kuba pulezidenti okumala emyaka 30 awummule . Era bwe namugamba awummule n’agaana ng’ayagala nnyongere okumuwagira alemereko kwe kwawukana naye,’’ Mbabazi bwe yagambye.

 

Yagambye nti ali mu lwokaano ssi lwa kwagala bukulembeze wabula lwa kulaba ng’asobozesa enkyukakyuka okubaawo. 

 

‘’Mbadde mu bukulembeze okumala ebbanga kyokka kati nneewaddeyo okulaba nga nnyamba abantu ba Uganda okufuna ekyukakyuka,’ Mbabazi bwe yagambye.

 

Yayongeddeko nti yejjusa olw’okuwagira okuggya ekkomo ku bisanja n’agamba nti olunadda mu bukulembeze ng’abikomyawo mu nnaku kikumi z’anaasooka okufugira.

 

‘’Mu nnaku kikumi ezisooka ng’enda kuzza ekkomo ku bisanja mu konsityusoni y’eggwanga  era mu myaka ettaano egisooka ng'enda kulaba nga tukola ekisoboka okutegeka abavubuka okutwala obukulembeze,’’ bwe yaggumizza.

 

Yagambye nti asanga obuzibu okukola ku bizibu by’Abateso  nga abatwala ente zaabwe kuba ssi ye yali Pulezidenti.

 

Yasuubizza okutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza, okulwanyisa obwavu n’abasaba bamulonde.  Yabasuubizza n’okubafunira obutale bw’ebirime.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...

Ssenga1 220x290

Lwaki malamu mangu akagoba?

Ndi musajja wa myaka 40. Nnina ekizibu eky’okumala amangu nga ndi n’omwagalwa wange.