TOP

DPC w'e Moroto akubye bannamawulire mu lukung'aana lwa Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2016

DPC wa poliisi y’e Moroto, George Obia akubye bannamawulire n’abawambako kkamera zaabwe okuyuzaayuza engoye zaabwe nga bakwata ebifaanannyi bya Dr. Kiiza Besigye ng’ali mu lukung’aana ku Boma Grounds mu disitulikiti y’e Moroto.

Soma1 703x422

Abaserikale nga balwanagana n'abaamawulire

DPC wa poliisi y’e Moroto, George Obia akubye bannamawulire n’abawambako kkamera zaabwe okuyuzaayuza engoye zaabwe nga bakwata ebifaanannyi bya Dr. Kiiza Besigye ng’ali mu lukung’aana ku Boma Grounds mu disitulikiti y’e Moroto.

Bannamawulire abakoseddwa kuliko; A. Kyaze owa Bukedde Ttivvi Jjingo Francis ne Ronald Galirwango aba NTV.

Moses Walubiri munnamawulire w’olupapula lwa Newvision eyabaddewo nga bino bibaawo ategeezezza omusasi waffe nti DPC ono nga tannayonoona kkamera gattako okukuba bannamawulire yasoose kutegeeza nti ye y’alina obuyinza obusembayo e Moroto era tawali ayinza kumugaana kukola ky’alina kukola bw’aba ayagadde.

Ekyaddiridde kuduumira basajja be ne batandika okukuba bannamawulire era mu kavuyo kano, kamera ya Jjingo Francis owa NTV ne bagikoona n’eyonooneka.

 bia ngali ku oliisi ye oroto Obia ng'ali ku Poliisi y'e Moroto

 

Oluvannyuma ensonga zaatwaliddwa ku poliisi e Moroto mu ofiisi ya RPC, Aruk Maruk, eyavumiridde ekikolwa kya DPC Obia.

Aruk yeetondedde bannamawulire n’abasaba okusonyiwa poliisi olw’ekikolwa kino ng’agamba nti Obia yakikoze ku lulwe ng’omuntu so ssi mu linnya lya Poliisi kuba teri yamutumye era agenda kuvunaanibwa ng’amateeka bwe galagira.

Yagambye nti okunoonyereza kutandikiddewo kyokka kkamera ya NTV eyayonooneddwa egenda kusasulwa,

Ye Robert Ssempala omukwanaganya w’ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga avumiridde ekikola kya ofiisa wa poliisi ono ali ku ddaala lya DPC n’agamba nti ono ate yandibadde kyakulabirako eri banne kyokka kya nnaku okuba nti yaduumidde basajja be okukola effujjo ku bannamawulire n’okwonoona ebintu byabwe.

Ssempala yayongeddeko nti  poliisi eteekeddwa okusasula kkamera eyayonooneddwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...