OMUSAJJA abadde akukusa emmundu okuva e South Africa n’aziguza Bannayuganda poliisi e Kayunga emukutte n’emuggalira.
Poliisi era yamukonyuzza n'ayatula nga bwe bajja emmundu e South Africa ne baziguza abazeetaaga mu Uganda yonna.
Eyakwatiddwa ye Jamada Kasujja Kasule era nga poliisi okumukwata yasangiddwa ng'aliko omusuubuzi w’e Kayunga gw’aguza emmundu.

Poliisi yagenze mu muzigo gwe n’egwazza era eno yasanzeeyo effumu n’akambe Kasujja bwe yagambye nti bibye bya kwekuumisa.
Kigambibwa nti abantu abava e South Africa abasinga obungi batunda emmundu kuno era nga zino ze zikozesebwa mu bunyazi obulimu n’okukuba abantu amasasi ne babatta n’okusinga abakola ku bizinensi za 'Mobile Money' obucaase ensangi zino.
Jamada Kasujja ku mulundi guno poliisi yamukutte atunda emmundu ekika kya basitoola entono era kigambibwa nti ono okutunda emmundu gwe gumu ku mirimu gy’akola.

Poliisi yamukunyizza nga by’ayogera tebikwatagana n’ategeeza nti emmundu z’atunda zitta binyonyi.
Poliisi olwamaze okwaza ennyumba ye yayazizza n’emmotoka ye wabula ng'ebimu ku bitundu by’emmotoka byalemye okusumulukuka ne bajuliza kufuna makanika.
Akulira bambega ba poliisi e Kayunga, Maliserino Mulema yagambye nti ono baamugguddeko emisango ebiri omuli ogw’okubeera n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka wamu n’okutunda emmundu era nga okubuuliriza kukyagenda mu maaso.