TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Aba Triplets Gitawo abayiyeemu kavu bakole vidiyo okujjukira munnaabwe Ssempijja

Aba Triplets Gitawo abayiyeemu kavu bakole vidiyo okujjukira munnaabwe Ssempijja

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2016

Aba Triplets Foundation bacacanca! Gitawo ne banne aba TMT babayiyeemu kavu wa 1,500,000 okujjukira munnaabwe Alex Ssempijja eyafiira mu kabenje k'akagaali omwaka oguwedde

Ghetto1 703x422

Abaana ba Ghetto Kids (Triplets) nga bakwasibwa Asha Kaaja maneja wa Jah Live ssonde z'okukwata vidiyo y'omuyimba lw'okujjukira Alex Ssempijja (ku ddyo)

Nga yaakamala okubaddukirira n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo n'agattako okubawa ssente enkalu akakaddde kamu ng’entandikwa ku ssente za fiizi ze yabasuubiza okubawa buli ttamu,Omusama Cameroon Gitawo (Chris Mbibo) akulira ekibiina kya The Money Team Africa (TMT) azzeemu okudduukirira abaana ba Ghetto Kids bayite Triplets nga ku mulundi guno abawadde ssente enkalu 1,500,000/- ez’okukola vidiyo y’oluyimba lwe baayiiyizza okujjukira munnaabwe Alex Ssempijja.

Gitawo nga tannaba kuddayo South Africa gy’akolera, abaana bano baamutegeeza ku pulaani yaabwe ey’okumaliriza omulimu (oluyimba) Ssempijja gwe yali atandiseeko mu kiseera we yagwiira ku kabenje ne Patricia Nabakooza, Ssempijja amale afe kyokka ng’ekizibu kyabwe kibadde kya ssente ezeetaagibwa okukola vidiyo y’okumujjukirako, wano Gitawo kwe kubawa ssente akakadde akamu n’ekitundu ze baamugamba.

baana ba hetto ids riplets nga bakwasibwa sha aaja maneja wa ah ive ssonde zokukwata vidiyo yomuyimba lwokujjukira lex sempijja Abaana ba Ghetto Kids (Triplets) nga bakwasibwa Asha Kaaja maneja wa Jah Live ssonde z'okukwata vidiyo y'omuyimba lw'okujjukira Alex Ssempijja

 

Olubadde okubasindikira ssente zino, bano basiimye Gitawo olw’okuba n’omutima omugabi era omusaasizi amangu ago nga bakulembeddwaamu maneja waabwe Dauda Kavuma badduse misinde okugenda ku situdiyo ya Jah Live gye bakutudde naye ddiiru y’okukwata vidiyo eno.

“Ssempijja ekintu ky’abadde akola abadde akyagala ate nga akikola n’obwegendereza y’ensonga lwaki ku myaka emito abantu bangi basobodde okumumanya n’okumwagala. Mu mbeera ono mu luyimba luno lwe tutumye ‘Gingale’ tugenda kujjukira amazina ag’omulembe Ssempijja g'abadde ayolesa era agamutunze mu bantu," Maneja wa Triplets, Dauda kavuma bwe yagambye.

Ayongeddeko nti

" Eno ye vidiyo yaffe egenda okusooka okuba ey’essente ennyingi ate nga twambadde bulungi kale twebaza Mw. Gitawo ne banne mu kibiina kya TMT okuli Meddie Ssentongo era tusaba abantu abalala okubalabirako kubanga abaana okuba n’ebitone tekimala, beetaaga okuyamba okubikulaakulaanya n’obuwagizi".

itawo ne eddie aba  abaawaddeyo akakadde kamu nekitundu eri aba triplets Gitawo ne Meddie aba TMT abaawaddeyo akakadde kamu n'ekitundu eri aba Ttriplets

 

 
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...