TOP

Kitaabwe abapangisirizza ennyumba n’abaddukako

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2016

Abaana bano bagamba nti taata waabwe ye Silva Owora nga yabaggya ku maama waabwe, Prossy Nakiwala ow’e Nabweru n’abapangisiriza ennyumba e Katooke.

Yamba 703x422

Abaana abakuumibwa ku poliisi.

POLIISI y’ e Kawempe etubidde n’abaana bana abaanunuddwa mu nnyumba gye baalekeddwaamu bokka oluvannyuma lwa kitaabwe okubalekawo.

Abaana bano bagamba nti taata waabwe ye Silva Owora nga yabaggya ku maama waabwe, Prossy Nakiwala ow’e Nabweru n’abapangisiriza ennyumba e Katooke.

Nnannyini mayumba okusula abaana bano, Joseph Musasizi agamba nti omusajja yajja n’amusaba ennyumba n’amusasula n’ateekamu abaana bano.

Agamba nti Owora abadde nga amulabiriza n’adduka wabula ku luno yabadde amaze ennaku ssatu nga tadda waka nga n’abaana tebalina kyakulya kwe kubatwala ku poliisi y’ e Kawempe.

Abaana kuliko Ester Akumu 8, Sam Opendi 7, Silva Muwora 5, Paul Okune.

Okusinziira ku akulira ensonga z’abaana ku poliisi y’e Kawempe, Judith Kabajulizi, banoonya bazadde b’abaana bano nga bakuumibwa ku fayiro SD: 27/12/01/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...