TOP

Eyapasula muka Ssekamatte beeraze amapenzi mu bbaala

By Meddie Musisi

Added 15th January 2016

OMUSAJJA eyapasula mukazi wa Grace Ssekamatte omukulu alaze ssente bw’akoze akabaga k’amazaalibwa ge n’alagira buli abadde mu bbaala anywe n’okulya ku akawunti ye.

Laga 703x422

Prossy ne Ngobi nga beeraga amapenzi. Ku ddyo ye Grace Ssekamatte

OMUSAJJA eyapasula mukazi wa Grace Ssekamatte omukulu alaze ssente bw’akoze akabaga k’amazaalibwa ge n’alagira buli abadde mu bbaala anywe n’okulya ku akawunti ye.

Ronald Ngobi ye yalaze ssente mu bbaala ya Mangerez ku luguudo lwe Salaama ku Lwokuna ekiro.

Ngobi yapasula Prossy eyali muka Ssekamatte omukulu ng’amulinamu n’abaana babiri. Ssekamatte ne Prossy baali babeera mu maka gaabwe e Seguku ku lwe Ntebe kyokka nga Ssekamatte yasooka kusuulawo Prossy n’apaala ne nkubakyeyo Sophie Keems eyatuuka n’okumusiramula.

Ensonda zaategeezezza nti Ngobi ne Prossy bamaze emyaka esatu nga bakukuta mu mukwano era balina ne bbebi wa mwaka gumu.

Ku kabaga kano, abaagalana bano bakira beekola obusolo omwabadde okweriisa nga gy’obeera baliko gwe balumya.

Obwedda bino byonna bigenda mu maaso nga mikwano gyabwe okwabadde Queen Florence bwe babakubira obuluulu n’okuwaana Ngobi okumanya okulaga Prossy amapenzi n’amwerabiza ennaku ya Ssekamatte.

Ngobi yagambye nti agenda kwongera okuteeka kaasi mu Prossy n’okusingira ddala mu bbaala ye eya Mangerez abulweko ky’ajulirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...